Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
31 verses
1Ebigambo bya kabaka Lemweri; ebyalagulwa nnyina bye yamuyigiriza.
2Kiki, mwana wange? era kiki, ai mwana w'olubuto lwange? Era kiki, ai mwana w'obweyamo bwange?
3Towanga bakazi amaanyi go, Newakubadde amakubo go eri ekyo ekizikiriza bakabaka.
4Si kwa bakabaka, ai Lemweri, si kwa bakabaka okunywanga omwenge; So si kwa balangira okwogeranga nti Ekitamiiza kiri ludda wa?
5Balemenga okunywa ne beerabira amateeka, Ne banyoola omusango gw'omuntu yenna abonyaabonyezebwa.
6Mumuwenga ekitamiiza oyo ayagala okufa, N'omwenge oyo alina emmeeme eriko obuyinike:
7Anywenga yeerabirenga obwavu bwe, Alemenga okujjukira nate ennaku ze.
8Yasamanga akamwa ko olwa kasiru, Okuwoza ensonga y'abo bonna abalekebwa nga tebalina bannaabwe.
9Yasamanga akamwa ko osalenga emisango egy'ensonga, Osalirenga emisango omwavu n'eyeetaaga.
10Omukazi omwegendereza ani ayinza okumulaba? Kubanga omuwendo gwe gusinga wala amayinja amatwakaavu.
11Omutima gwa bba gumwesiga, So taabulwenga magoba.
12Amukola bulungi so si bubi Ennaku zonna ez'obulamu bwe.
13Anoonya ebyoya by'endiga ne ppamba, N'akola emirimu n'engalo ze n’essanyu.
14Ali ng'amaato ag'abasuubuzi; Emmere ye agiggya wala.
15Era agolokoka nga bukyali bwa kiro, N'awa ab'omu nnyumba ye ebyokulya, N'agabira abawala be emirimu gyabwe.
16Alowooza ennimiro n'agiguia: Asimba olusuku olw'emizabbibu n'ebibala eby'emikono gye.
17Yeesiba n'amaanyi, N'anyweza emikono gye.
18Alaba ng'obuguzi bwe bulimu ettunzi: Ettabaaza ye tezikira kiro.
19Ateeka engalo ze ku muggo ogubaako ppamba, Emikono gye ne gikwata akati akalanga.
20Ayanjululiza omwavu omukono gwe: Weewaawo, agololera emikono gye oyo eyeetaaga.
21Omuzira tagutiira ab'omu nnyumba ye; Kubanga ab'omu nnyumba ye bonna bambadde olugoye olumyufu.
22Yeekolera amagodooli; Ebyambalo bye bafuta nnungi n'olugoye olw'effulungu.
23Bba amanyibwa mu miryango, Bw'atuula mu bakadde ab'ensi.
24Atunga ebyambalo ebya bafuta n'abitunda; N'awa omusuubuzi enkoba.
25Amaanyi n'okutiibwa bye byambalo bye; Era asekerera ebiro ebigenda okujja.
26Ayasama akamwa ke n'amagezi; N'etteeka ery'ekisa liba ku lulimi lwe.
27Alabirira nnyo empisa ez'ab'omu nnyumba ye, So talya mmere ya kugayaala.
28Abaana be bagolokoka ne bamuyita wa mukisa; Ne bba, n'amutendereza ng'ayogera nti
29Abawala bangi abaakola eby'okwegendereza, Naye ggwe obasinga bonna.
30Okuganja kulimba n'obulungi tebuliiko kye bugasa: Naye omukazi atya Mukama ye anaatenderezebwanga.
31Mumuwenga ku bibala eby'emikono gye; N'emirimu gye gimutenderezenga mu miryango.