Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
33 verses
1Ebigambo bya Aguli mutabani wa Yake; ebyalagulwa. Omusajja agamba Isyeri, Isyeri ne Ukali;
2Nti Mazima nninga ensolo okusinga omuntu yenna, So sirina kutegeera kwa muntu:
3So siyiganga magezi, So sirina kumanya kw'oyo Omutukuvu.
4Ani eyali alinnye mu ggulu n'akka? Ani eyali akuŋŋaanyizza empewo mu bikonde bye? Ani eyali asibye amazzi mu kyambalo kye? Ani eyali anywezezza enkomerero zonna ez'ensi. Erinnya lye ye ani, n'omwana we erinnya lye ye ani, oba ng'omanyi?
5Buli kigambo kya Katonda kikemebwa: Aba ngabo eri abo abamwesiga.
6Toyongeranga ku bigambo bye, Aleme okukunenyanga naawe n'olabika ng'omulimba.
7Nkusabye ebigambo bibiri; Tonnyima nga sinnafa:
8Ggyangawo ebigambo ebitaliimu n'eby'obulimba bibe wala nange: Tompanga bwavu newakubadde obugagga; Ndisanga emmere gye nneetaaga:
9Nneme okukkutanga ne nkwegaana ne njogera nti Mukama ye ani? Era nnemenga okuba omwavu ne nziba, Ne njogera bubi erinnya lya Katonda wange.
10Towaayirizanga muddu eri mukama we, Alemenga okukukolimira naawe n'olowoozebwa ng'ozizza omusango.
11Waliwo abantu abakolimira kitaabwe; So tebasabira nnyaabwe omukisa.
12Waliwo abantu ababa abalongoofu mu maaso gaabwe bo, Era naye tebanaazibwako empitambi yaabwe.
13Waliwo abantu, amaaso gaabwe nga malalambavu! N'ebikowe byabwe bigulumizibwa.
14Waliwo abantu amannyo gaabwe bitala, n'amasongezo gaabwe bwambe, Okulya abaavu okubamalawo ku nsi, n'abeetaaga mu bantu.
15Ekinoso kirina abawala baakyo babiri aboogerera waggulu nti Mpa, mpa. Waliwo ebintu bisatu ebitakkuta ennaku zonna, Weewaawo, ebina ebitayogera nti Lekera awo:
16Amagombe; n'olubuto olugumba; N'ensi etekkuta mazzi; N'omuliro ogutayogera nti Lekera awo.
17Eriiso erikudaalira kitaawe, Ne linyooma okugondera nnyina, Bannamuŋŋoona ab'omu kiwonvu baliriggyamu, N'empungu ziririrya.
18Waliwo ebigambo bisatu eby'ekitalo ebinnema, Weewaawo, ebina bye ssimanyi:
19Ekkubo ery'empungu mu bbanga; Ekkubo ery'omusota ku lwazi; Ekkubo ery'eryato wakati mu nnyanja; N'ekkubo ery'omusajja n'omuwala.
20Bwe lityo bwe libeera ekkubo ery'omukazi omwenzi; Alya n'asangula ku mimwa gye, N'ayogera nti Siriiko bubi bwe nkoze.
21Ensi ekankanira ebigambo bisatu, Era ebina by'eteyinza kugumiikiriza:
22Omuddu bw'aba kabaka; N'omusirusiru bw'akkuta emmere;
23Omukazi omugwagwa bw'afumbirwa; N'omuzaana asikira mugole we.
24Waliwo ebintu bina ebitono ku nsi, Naye birina amagezi mangi nnyo nnyini:
25Enkolooto lye ggwanga eritalina maanyi, Naye zeeterekera emmere yaazo mu kyeya;
26Obumyu buntu bunafu, Naye bwezimbira ennyumba zaabwo mu mayinja;
27Enzige tezirina kabaka, Naye zitabaala zonna bibiina bibiina;
28Omunya gukwata n'engalo zaagwo, Naye gubeera mu mayumba ga bakabaka.
29Waliwo ebintu bisatu ebyesimba obulungi mu kutambula kwabyo, Weewaawo, ebina ebyesimba obulungi mu kugenda:
30Empologoma esinga ensolo zonna amaanyi, So tewali gy'esegulira yonna;
31Embwa enjizzi; era n'embuzi ennume; Ne kabaka atagolokokerwako.
32Oba ng'okoze eby'obusirusiru nga weegulumiza, Oba ng'olowoozezza obubi, Teekanga omukono gwo ku kamwa ko.
33Kubanga okusunda amata kuleeta omuzigo, N'okunyigiriza ennyindo kuleeta omusaayi: N'okunyigiriza kw'obusungu bwe kutyo kuleeta oluyombo.