Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
27 verses
1Omuntu akakanyaza ensingo ye bw'anenyezebwa emirundi emingi Alimenyeka nga tamanyiridde awatali kuwonyezebwa.
2Abatuukirivu bwe beeyongera, abantu basanyuka: Naye omuntu omubi bw'afuga, abantu basinda.
3Buli ayagala amagezi asanyusa kitaawe: Naye oyo abeera n'abakazi abenzi amalawo ebintu bye.
4Kabaka anyweza ensi lwa kusala misango: Naye asolooza enguzi agisuula.
5Omuntu anyumiriza munne Ategera ebigere bye ekitimba.
6Mu kusobya kw'omuntu omubi mulimu ekyambika: Naye omutuukirivu ayimba n'asanyuka.
7Omutuukirivu yeetegereza ensonga ey'abaavu: Naye omubi talina kutegeera okugimanya.
8Abantu abanyooma basasamaza ekibuga: Naye abantu ab'amagezi bakyusa obusungu ne buvaawo.
9Omuntu ow'amagezi bw'aba n'empaka n'omuntu omusirusiru, Oba nga asunguwala oba nga aseka, tewaliba kuwummula.
10Abayagala omusaayi bakyawa oyo eyatuukirira: N'omugolokofu banoonya obulamu bwe.
11Omusirusiru ayatula obusungu bwe bwonna: Naye omuntu ow'amagezi abuziyiza n'abukkakkanya.
12Omukulu bw'awulira eby'obulimba, Abaddu be bonna baba babi.
13Omwavu n'omujoozi balabagana: Mukama ayakira amaaso gaabwe bombi.
14Kabaka asalira abaavu emisango n'obwesigwa, Entebe ye eneenywezebwanga emirembe gyonna.
15Omuggo n'okunenya bireeta amagezi: Naye omwana gwe balekera awo akwasa nnyina ensonyi.
16Ababi bwe beeyongera, okusobya kweyongera: Naye abatuukirivu balitunuulira okugwa kwabwe.
17Buuliriranga omwana wo, anaakuwanga okuwummula; Weewaawo, anaasanyusanga emmeeme yo.
18Awatali kwolesebwa, abantu basuula okuziyizibwa: Naye akwata amateeka alina omukisa.
19Omuddu taganya kubuulirirwa lwa bigambo: Kubanga ne bw'ategeera talissaayo mwoyo.
20Olaba omuntu ayanguyiriza ebigambo bye? Omusirusiru asuubirwa okukira ye.
21Alera omuddu we nga yeekanasa okuva mu buto bwe Alimufuukira omwana ku nkomerero.
22Omuntu ow'obusungu aleeta ennyombo, N'ow'ekiruyi okusobya kwe kuba kungi nnyo nnyini.
23Amalala ag'omuntu galimutoowaza: Naye alina omwoyo ogwetoowaza alifuna ekitiibwa.
24Buli assa ekimu n'omubi akyawa obulamu bwe ye: Awulira okulayizibwa n'atabaako ky'ayogera.
25Okutya abantu kuleeta ekyambika: Naye buli eyeesiga Mukama anaabanga mirembe.
26Bangi abaagala okuganja eri omukulu: Naye omusango gw'omuntu guva eri Mukama.
27Omuntu atali wa nsonga wa muzizo eri abatuukirivu: N'oyo akwata ekkubo eggolokofu wa muzizo eri ababi.