Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
28 verses
1Ababi badduka nga tewali muntu agoberera: Naye abatuukirivu baguma emyoyo ng'empologoma.
2Olw'okusobya kw'ensi bakabaka baamu baba bangi: Naye olw'abantu abalina okutegeera n'okumanya okunywera kwayo kulyongerwako.
3Omuntu eyeetaaga ajooga abaavu Nkuba ewemmenta etalekaawo mmere yonna.
4Abo abaleka amateeka batendereza ababi: Naye abo abakwata amateeka bayomba nabo.
5Abantu ababi tebategeera musango: Naye abo abanoonya Mukama bategeera byonna.
6Omwavu atambulira mu butayonoona bwe Akira obulungi ow'amakubo amakyamu, newakubadde nga mugagga.
7Buli akwata amateeka mwana wa magezi: Naye aba mukwano gw'abantu abaluvu akwasa kitaawe ensonyi.
8Ayongera ku bintu bye olw'amagoba n'ebisalirwa Akuŋŋaanyiza oyo asaasira abaavu.
9Akyusa okutu kwe obutawulira mateeka, N'okusaba kwe kwa muzizo.
10Buli akyamya abagolokofu mu kkubo ebbi Aligwa ye yennyini mu bunnya bwe ye: Naye abo abatuukirira balisikira ebirungi.
11Omugagga aba wa magezi mu kulowooza kwe ye; Naye omwavu alina okutegeera amukebera.
12Abatuukirivu bwe bawangula, wabaawo ekitiibwa ekinene: Naye ababi bwe bagolokoka, abantu beekweka.
13Abikka ku kusobya kwe taliraba mukisa: Naye buli akwatula n'akuleka alifuna okusaasirwa.
14Alina omukisa omuntu atya mu biro byonna. Naye oyo akakanyaza omutima gwe aligwa mu kabi.
15Ng'empologoma ewuluguma n'eddubu etambulatambula; Bw'abeera bw'atyo omukulu omubi afuga abantu abaavu.
16Omulangira atalina kutegeera aba mujoozi nnyo era: Naye oyo akyawa omululu aliwangaala ennaku nnyingi.
17Omuntu eyeebinise omusaayi ogwa buli muntu yenna Aliddukira mu bunnya; tewabangawo muntu amuziyiza.
18Buli atambula n'obugolokofu aliwonyezebwa: Naye ow'amakubo amakyamu aligwa mangu ago.
19Alima ensi ye aliba n'emmere nnyingi: Naye agoberera abantu abataliiko kye bagasa aliba n'obwavu obulimumala.
20Omuntu omwesigwa aliba n'okwebazibwa kungi: Naye ayanguwa okugaggawala taliwona kubonerezebwa.
21Okusosola mu bantu si kulungi: Newakubadde omuntu okusobya olw'akamere obumere.
22Alina eriiso ebbi ayanguwa okugoberera obugagga, So tamanyi ng'okwetaaga kulimutuukako.
23Anenya omuntu oluvannyuma alyeyongera okuganja Okusinga oyo anyumiriza n'olulimi.
24Buli anyaga kitaawe oba nnyina n'ayogera nti Si musango; Oyo ye munne w'omuzikiriza.
25Ow'omwoyo ogw'omululu aleeta oluyombo: Naye eyeesiga Mukama aligejja.
26Eyeesiga omutima gwe ye musirisiru: Naye atambula n'amagezi ye aliwonyezebwa.
27Agabira omwavu teyeetaagenga: Naye akisa amaaso ge anaabanga n'ebikolimo bingi.
28Ababi bwe bagolokoka, abantu beekweka: Naye bwe bazikirira, abatuukirivu beeyongera.