Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
27 verses
1Teweenyumirizanga bya nkya; Kubanga tomanyi bwe binaaba olunaku bye luyinza okuzaala.
2Omundi akutenderezenga, so si kamwa ko ggwe; Omugenyi, so si mimwa gyo ggwe.
3Ejjinja lizitowa, n'omusenyu muzito; Naye okweraliikirira kw'omusirusiru kubisinga byombi obuzito.
4Obusungu bukambwe, n'ekiruyi mukoka; Naye ani ayinza okuyimirira awali obuggya?
5Okunenya mu lwatu Kusinga obulungi okwagala okukisibwa.
6Ebiwundu eby'omukwano byesigwa: Naye okunywegera kw'omulabe kuba kungi nnyo nnyini.
7Emmeeme ekkuse etamwa ebisenge by'enjuki: Naye emmeeme erumiddwa enjala buli kintu ekikaawa ekiyita kiwoomerevu.
8Ng'ennyonyi ewaba okuva mu kisu kyayo, Bw'atyo bw'abeera omuntu awaba okuva mu kifo kye.
9Amafuta ag'omugavu n'eby'akaloosa bisanyusa omutima: Obuwoomerevu bw'omukwano gw'omuntu bwe busanyusa bwe butyo obuva mu kuteesa okw'omu mwoyo gwe.
10Mukwano gwo ggwe ne mukwano gwa kitaawo tobaabuliranga; So togendanga mu nnyumba ya muganda wo ku lunaku kw'olabira obuyinike: Muliraanwa wo akuli okumpi akira ow'oluganda ali ewala.
11Mwana wange, beeranga n'amagezi osanyusenga omutima gwange. Ndyokenga nziremu oyo anvuma.
12Omuntu omutegeevu alaba obubi ne yeekweka: Naye abatalina magezi bayitawo buyisi ne bafiirwa.
13Twalanga ekyambalo ky'oyo eyeeyimirira gw'atamanyi; Era mubowenga oyo eyeeyimirira omukazi omugenyi.
14Eyeebaza mukwano gwe n'eddoboozi eddene, ng'agolokoka enkya mu makya, Kinaayitibwanga kikolimo gy'ali.
15Okutonnya olutata, obudde nga bwa nkuba nnyingi, N'omukazi omuyombi bw'afaanana:
16Ayagala okumuziyiza aziyiza empewo, N'omukono gwe ogwa ddyo gulwana n'amafuta.
17Ekyuma kiwagala kyuma; Bw'atyo omuntu awagala amaaso ga mukwano gwe.
18Buli alima omutiini anaalyanga ku bibala byagwo; N'oyo aweereza mukama we anassibwangamu ekitiibwa.
19Ng'amaaso bwe goolekera amaaso mu mazzi, Bwe gutyo omutima gw'omuntu bwe gwolekera omuntu.
20Amagombe n'okuzikirira tebikkutanga ennaku zonna; N'amaaso g'abantu tegakkutanga ennaku zonna.
21Entamu erongoosa ya ffeeza, n'ekikoomi kya zaabu, N'omuntu akemebwa lwa kumutendereza.
22Ne bw'osekula omusirusiru mu kinu n'omusekuzo mu kasooli omusekule, Era naye obusirusiru bwe tebuumuvengako.
23Obeeranga munyiikivu okumanya embuzi zo bwe ziri, Okeberanga nnyo ente zo:
24Kubanga obugagga si bwa lubeerera; Era engule ebeerera awo okutuusa emirembe gyonna?
25Omuddo omukalu gutwalibwa n'essubi eggonvu lirabika, N'emiddo egy'oku nsozi bagiyingiza.
26Abaana b'endiga baba ba kukwambaza, N'embuzi gwe muwendo gw'ennimiro:
27Era walibaawo amata ag'embuzi; aganaamalanga okukuliisa n'okuliisa ab'omu nnyumba yo, N'ebyokulya eby'abawala bo.