Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
28 verses
1Ng'omuzira bwe gutasaana mu kyeya, era ng'enkuba mu biro eby'okukunguliramu, N'ekitiibwa bwe kityo tekisaanira musirusiru.
2Ng'enkazaluggya mu kuwaba kwayo, era ng'akataayi mu kubuuka kwako, Bwe kityo n'ekikolimo eky'obwereere tekiggwa.
3Oluga lusaanira mbalaasi, olukoba lusaanira ndogoyi, N'omuggo gusaanira mabega ga basirusiru.
4Toddangamu musirusiru ng'obusirusiru bwe bwe buli, Era naawe olemenga okumufaanana.
5Oddangamu omusirusiru ng'obusirusiru bwe bwe buli, Alemenga okuba ow'amagezi mu kulowooza kwe ye.
6Aweereza ebigambo mu mukono gw'omusirusiru Yeesalako ebigere, era anywa okufiirwa.
7Amagulu gawenyera galeebeeta buleebeesi: Olugero bwe lubeera bwe lutyo mu kamwa k'abasirusiru.
8Ng'ensawo erimu amayinja ag'omuwendo omungi eri mu kifunvu eky'amayinja, Bw'atyo bw'abeera oyo assaamu ekitiibwa omusirusiru.
9Ng'eriggwa erifumita omukono gw'omutamiivu, Olugero bwe lubeera bwe lutyo mu kamwa k'abasirusiru.
10Ng'omulasi afUMita bonna, Bw'abeera bw'atyo oyo agulirira omusirusiru, n'oyo agulirira abo abayitawo.
11Ng'embwa edda ku bisesemye byayo, Bw'abeera bw'atyo omusirusiru addiŋŋana mu busirusiru bwe.
12Olaba omuntu ow'amagezi mu kulowooza kwe ye? Omusirusiru asuubirwa okukira ye.
13Omugayaavu ayogera nti Waliwo empologoma mu kkubo; Empologoma eri mu nguudo.
14Ng'oluggi bwe lukyukira ku ŋŋango zaalwo, Omugayaavu bw'akyukira bw'atyo ku kitanda kye.
15Omugayaavu annyika omukono gwe mu kibya; Okuguzza nate ku kamwa ke kumukooyesa.
16Omugayaavu alina amagezi mu kulowooza kwe ye Okukira abantu omusanvu abayinza okuleeta ensonga.
17Ayitawo ne yeeraliikirira olw'empaka ezitali zize Aliŋŋanga akwata embwa ku matu.
18Ng'omutalu akasuka emimuli, N'obusaale, n'okufa;
19Bw'atyo bw'abeera omuntu alimba munne, N'ayogera nti Sizannya buzannya?
20Enku nga zibuze omuliro kyeguva guzikira: Era awabuze omugeyi, okuyomba kuggwaawo.
21Ng'amanda bwe gakwata ebisiriiza ebyokya n'enku nga bwe zikoleeza omuliro, Omuntu omuyombi bw'akoleeza bw'atyo oluyombo.
22Ebigambo eby'omugeyi biri ng'ebiwundu, Era bikka mu bisenge eby'omu lubuto.
23Emimwa eminyiikivu n'omutima omubi Biri ng'ekintu eky'ebbumba ekibikkiddwako amasengere aga ffeeza.
24Akyawa akuusakuusa n'emimwa gye, Naye atereka obulimba mu ye:
25Bw'ayogeranga eky'okwegonza, tomukkirizanga: Kubanga mu mutima gwe mulimu eby'emizizo musanvu:
26Okukyawa kwe newakubadde nga kwebikkako obukuusa, Obubi bwe bulyolesebwa mu lwatu mu maaso g'ekibiina.
27Buli asima obunnya, aligwa omwo: N'oyo ayiringisa ejjinja, liridda ku ye.
28Olulimi olulimba lukyawa abo be lwafumita; N'akamwa akanyumiriza kaleeta okuzikirira.