Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
28 verses
1Era na zino ngero za Sulemaani, abasajja ba Keezeekiya kabaka wa Yuda ze baawandiika.
2Okukisa ekigambo kitiibwa kya Katonda: Naye okukebera ekigambo kye kitiibwa kya bakabaka.
3Eggulu nga bwe ligenda ennyo waggulu, n'ensi nga bw'egenda ennyo wansi. N'omutima gwa bakabaka tegunoonyezeka.
4Ggyangamu amasengere mu ffeeza, Ne muvaamu ekibya eky'omulongoosa:
5Ggyangawo ababi mu maaso ga kabaka, N'entebe ye erinywezebwa mu butuukirivu.
6Teweekuza mu maaso ga kabaka, So toyimiriranga mu kifo eky'abakulu:
7Kubanga waakiri bakugambe nti Yambuka wano; N'otossibwa wansi mu maaso g'omulangira, Amaaso go gwe galabye.
8Tofulumanga mangu okuwakana, Olemenga okubulwa ku nkomerero by'oba okola, Munno ng'akuswazizza.
9Wozanga ensonga yo ne munno yennyini, So tobikkulanga kyama kya beene:
10Akiwulira alemenga okukuvuma, Okuswala kwo ne kutavangawo.
11Ekigambo ekyogerwa nga bwe kisaanye Kiri ng'amapeera aga zaabu mu bisero ebya ffeeza.
12Ng'empeta ey'omukutu eya zaabu n'ekyobuyonjo ekya zaabu ennungi, Ow'amagezi anenya bw'abeera bw'atyo eri okutu kw'okugonda.
13Ng'empewo eya serugi bw'ebeera mu biro eby'okukunguliramu, Omubaka omwesigwa bw'abeera bw'atyo eri abo abamutuma; Kubanga aweezaweeza emmeeme ya bakama be,
14Ng'ebire n'empewo awatali nkuba, Bw'atyo bw'abeera oyo eyeenyumiriza olw'ebirabo bye ng'alimba.
15Okugumiikiriza okulwawo ennyo kwe kusendasenda omukulu, N'olulimi olugonvu lumenya eggumba.
16Olabye omubisi gw'enjuki? lyangako ogunaakumala obumazi; Olemenga okugukkuta n'ogusesema.
17Ekigere kyo tekirinnyanga mirundi mingi mu nnyumba ya munno; Alemenga okukunyiwa n'akukyawa.
18Omuntu awaayiriza munne Nnyondo n'ekitala n'akasaale ak'obwogi.
19Okwesiga omuntu atali mwesigwa mu biro eby'okulabiramu ennaku Linnyo erimenyese n'okugulu okusowose.
20Ng'omuntu ayambula ekyambalo mu biro eby'empewo, era ng'omwenge omukaatuufu, oguli ku luvu, Bw'atyo bw'abeera oyo ayimbira ennyimba omutima oguliko obuyinike.
21Omulabe wo bw'alumwanga enjala, omuwanga emmere ey'okulya; Era bw'alumwanga ennyonta, omuwanga amazzi okunywa:
22Kubanga olikuma amanda ag'omuliro ku mutwe gwe, Era Mukama alikuwa empeera.
23Embuyaga ez'obukiika obwa kkono zireeta enkuba: N'olulimi olulyolyoma bwe luleeta bwe lutyo amaaso agaliko obusungu.
24Beeranga waggulu ku nnyumba awafunda, Olemenga okubeera n'omukazi omuyombi mu nnyumba engazi.
25Ng'amazzi amannyogovu bwe gaba eri emmeeme erumwa ennyonta, Ebigambo ebirungi ebiva mu nsi ey'ewala bwe biba bwe bityo.
26Ng'oluzzi olutabanguse, n'ensulo eyonoonese, Omuntu omutuukirivu bw'abeera bw'atyo bw'asegulira omubi.
27Si kirungi okulyanga omubisi gw'enjuki omungi: Bwe kityo abantu okunoonya ekitiibwa kyabwe bo si kitiibwa.
28Ataziyiza mwoyo gwe Ali ng'ekibuga ekimenyese so nga tekirina bbugwe.