Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
36 verses
1Egyo gye misango gy'oliteeka mu maaso gaabwe.
2Bw'ogulanga omuddu Omwebbulaniya, aweererezanga emyaka mukaaga: awo ogw'omusanvu aligenda n'eddembe bwereere.
3Oba nga yajja omu, agendanga omu: oba nga alina omukazi, mukazi we agendanga naye.
4Mukama we bw'amuwanga omukazi n'amuzaalira abaana ab'obulenzi oba abaana ab'obuwala; omukazi n'abaana be balibeera ba mukama we, naye agendanga omu.
5Naye omuddu bw'ayogereranga ddala nti Njagala mukama wange; mukazi wange; n'abaana bange; saagala kugenda n'eddembe:
6Awo mukama we amuleetanga eri Katonda, amuleetanga ku luggi oba ku mufuubeeto; ne mukama we amuwummulanga okutu n'olukato; anaamuweerezanga ennaku zonna.
7Omuntu bw'atundanga muwala we okubeera omuzaana, tagendanga ng'abaddu bwe bagenda.
8Oba nga tasanyusa mukama we, eyamuwasa, amulekanga okununulibwa: okumuguza bannaggwanga taliragirwa, kubanga amulimbye.
9Oba nga amugabira omwana we, amukolanga ng'abawala.
10Oba ng'awasa omulala; emmere ye, n'engoye ze n'ebigambo bye eby'obugole tabikendeezangako.
11Era bw'atamukoleranga ebyo byonsatule, aligenda bwereere, awatali bintu.
12Akubanga omuntu okumutta, talemanga kuttibwa.
13Era omuntu bw'atateeganga, naye Katonda n'amuteeka mu mukono gwe; oyo ndikulagirira ekifo ky'aliddukiramu.
14Omuntu bw'ajjanga ng'agira ekyejo ku munne, okumutta n'olukwe; omuggyanga ku kyoto kyange, afe.
15Akubanga kitaawe oba nnyina, talemanga kuttibwa.
16Abbanga omuntu n'amutunda, oba bw'alabikanga mu mukono gwe, talemanga kuttibwa.
17Akolimiranga kitaawe oba nnyina, talemanga kuttibwa.
18Era abantu bwe balwananga, omuntu omu n'akuba munne ejjinja oba kikonde, n'atafa naye n'amala agalamizibwa ku kitanda:
19bw'agolokokanga n'avaayo n'asenvulira ku muggo, eyamukuba nga tazzizza musango: naye amugattanga olw'ebiseera bye bye yamwonoonera, era alimuwonyeza ddala.
20Era omuntu bw'akubanga omuddu we oba muzaana we n'omuggo bw'afanga ng'akyali wansi w'omukono gwe; talemanga kubonerezebwa.
21Naye bw'alwangawo ng'ennaku ebbiri, tabonerezebwanga: kubanga oli bye bintu bye.
22Era abantu bwe balwanalwananga, ne bakola obubi omukazi alina olubuto; olubuto ne luvaamu, naye akabi konna ne katabaawo: talemanga kuliwa, nga bba w'omukazi bw'alimusalira; aliriwa ng'abalamuzi bwe balagiranga.
23Naye akabi bwe kabangawo, owangayo obulamu olw'obulamu,
24eriiso olw'eriiso, erinnyo olw'erinnyo, omukono olw'omukono, ekigere olw'ekigere,
25okwokebwa olw'okwokebwa, ekiwundu olw'ekiwundu, okukubibwa olw'okukubibwa.
26Era omuntu bw'akubanga eriiso ly'omuddu we, oba eriiso ly'omuzaana we n'aliziba; amuwanga eddembe olw'eriiso lye.
27Omuntu bw'akubanga erinnyo ly'omuddu we oba erinnyo ly'omuzaana we, amuwanga eddembe olw'erinnyo lye.
28Era ente bw'etomeranga omusajja oba mukazi okubatta, ente teremanga kukubibwa mayinja, so n'ennyama yaayo teriibwanga; naye nannyini nte nga taliiko musango.
29Naye ente nga yamanyiira okutomeza amayembe edda, nannyiniyo n'abuulirwa so n'atagisiba, naye bw'ettanga amusajja oba mukazi; ente ekubibwanga amayinja, era ne nannyiniyo attibwanga.
30Bwe bamusaliranga olufuubanja, awangayo ebintu bye bamusalidde byonna okununula obulamu bwe.
31Bw'etomeranga omwana ow'obulenzi oba omwana ow'obuwala, nnyiniyo ateekebwangako omusango gwe gumu.
32Ente bw'etomeranga omuddu oba muzaana; awangayo eri mukama waabwe ebitundu eby'effeeza amakumi asatu, era n'ente ekubibwanga amayinja.
33Era omuntu bw'abikkulanga obunnya oba omuntu bw'asimanga obunnya n'atabubikkako, ente oba endogoyi n'egwamu,
34nannyini bunnya amuliyiranga omuwendo gw'ente; awangayo effeeza eri nannyinizo, n'ekisolo ekifudde kibeeranga kikye.
35Era ente y'omuntu bw'etomeranga ente ey'omulala n'emala egitta; batundanga ente ekyali ennamu, ne bagabana omuwendo gwayo; era n'efudde bagigabananga.
36Oba bwe kimanyibwanga nti ente yamanyiira okutomeza amayembe edda, nannyiniyo n'atagisiba; talemanga kuliwa ente olw'ente, n'ekisolo ekifudde kibeeranga kikye.