Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
31 verses
1Omuntu bw'abbanga ente, oba endiga, n'amala agitta oba kugitunda; azzangawo ente ttaano olw'ente, n'endiga nnya olw'endiga.
2Omubbi bw'alabibwanga ng'asima n'akubibwa n'amala afa, tewabanga musango gwa musaayi ku lulwe.
3Oba enjuba bw'eba ng'evuddeyo ku ye, wabanga omusango ogw'omusaayi ku lulwe: kimugwanidde okuliwa; oba nga talina kintu, atundibwanga olw'okubba kwe.
4Kye yabba bwe kirabikanga mu mukono gwe nga kikyali kiramu, oba nte, oba ndogoyi, oba ndiga; azzangawo bbiri.
5Omuntu bw'aliisanga olusuku oba nnimiro y'emizabbibu, bw'agirekanga ensolo ye n'erya ku lusuku olw'omuntu omulala; aliwanga ku by'olusuku lwe ebisinga, ne ku by'ennimiro ye ey'emizabbibu ebisinga.
6Omuliro bwe gwakanga ne gulinnya mu maggwa, emitwalo gy'eŋŋaano oba eŋŋaano ng'ekyamera oba nnimiro ne bimala bisiriira; akumanga omuliro, talemanga kuliwa.
7Omuntu bw'ateresanga munne effeeza oba bintu, ne bamala babibbira mu nnyumba ye; omubbi bw'anaalabikanga aliwanga emirundi ebiri.
8Omubbi bw'atalabikanga, nannyini nnyumba asembereranga Katonda, okulaba oba nga teyateeka mukono gwe ku bintu bya munne.
9Kubanga buli kigambo eky'okwonoona, oba olw'ente, oba olw'endogoyi, oba olw'endiga, oba olw'engoye, oba olwa buli kibuze, omuntu ky'ayogerako nti Kye kino, ensonga ey'abo bombi ereetwanga eri Katonda; oli Katonda gw'asaliranga omusango aliwanga emirundi ebiri.
10Omuntu bw'ateresanga munne endogoyi, oba nte, oba ndiga, oba nsolo yonna; nayo n'emala efa, oba kufaafaagana, oba okugobebwa nga tewali muntu alaba:
11ekirayiro kya Mukama kibeeranga wakati waabwe bombi, oba nga teyateeka mukono gwe ku bintu bya munne; nannyiniyo akikkirizanga, so taliwanga.
12Naye bw'ebbibwanga ku ye, amuliyiranga nannyiniyo.
13Bw'etaagulwataagulwanga, agireetanga ebe omujulirwa; tamuliyiranga olw'etaaguddwa.
14Era omuntu bw'asabanga ekintu eri munne, ne kyonooneka, oba ne kifa, nga taliiwo nannyinikyo, talemanga kumuliyira.
15Nannyinikyo bw'abangawo, tamuliyiranga: bwe kibanga eky'empeera, nga kyajja lwa mpeera yaakyo olw'okupangisa.
16Era omuntu bw'asendasendanga omuwala omuto atannayogerezebwa n'amala amwonoona, talemanga kuliwa bintu eby'obuko ku lulwe alyoke abeere mukazi we.
17Kitaawe bw'agaaniranga ddala okumumuwa, aliwanga ku muwendo ogw'okwogereza abawala abato.
18Omukazi omulogo tomulekanga mulamu.
19Buli asulanga n'ensolo, talemanga kuttibwa.
20Awangayo ssaddaaka eri katonda yenna, wabula eri Mukama yekka, azikirizibwanga ddala.
21Era munnaggwanga tomwonoonanga, so tomukolanga bubi: kubanga mwali bannaggwanga mu nsi ey'e Misiri.
22Buli nnamwandu ne mulekwa temubabonyaabonyanga.
23Bw'onoobabonyaabonyanga n'akatono, bwe banankaabiranga nze, siiremenga kuwulira kukaba kwabwe;
24era obusungu bwange bulyaka nnyo, nange naabattanga n'ekitala; ne bakazi bammwe baliba bannamwandu, n'abaana bammwe bamulekwa.
25Bw'owolanga buli omu mu bantu bange ali naawe effeeza nga mwavu, tomubeereranga ng'omubanzi, so tomusaliranga magoba.
26Bw'osingirwanga ekyambalo kya munno, omuddizangayo enjuba nga tennagwa:
27kubanga ekyo kye kimubikka kyokka, kye kyambalo kye eky'omubiri gwe: aneebikka ki? awo, bw'anankaabiranga, naawuliranga; kubanga nnina ekisa.
28Tovumanga Katonda, so tokolimiranga omukulu w'abantu bo.
29Tolwanga kuwaayo ku bungi obw'ebibala byo n'envinnyo yo. Omubereberye mu baana bo omumpanga.
30Bw'otyo bw'onookolanga era n'ente zo, n'endiga zo: ennaku musanvu ebeeranga ne nnyina waayo; ku lunaku olw'omunaana ogimpanga nze.
31Era munaabanga abantu abatukuvu gye ndi: kyemunaavanga mulema okulya ku nnyama ensolo gye zisse mu nsiko; mugisuuliranga embwa.