Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
32 verses
1Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
2Omwana w'omuntu, simba amaaso go okwolekera e Yerusaalemi, otonnyese ekigambo kyo okwolekera ebifo ebitukuvu, olagulire ku nsi ya Isiraeri;
3ogambe ensi ya Isiraeri nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, ndi mulabe wo, era ndisowola ekitala kyange ne nkiggya mu kiraato kyakyo, ne nkumaliramu ddala omutuukirivu n'omubi.
4Kale kubanga ndikumaliramu ddala omutuukirivu n'omubi, ekitala kyange kyekiriva kifuluma mu kiraato kyakyo okutabaala bonna abalina omubiri, okuva obukiika obwa ddyo okutuuka obukiika obwa kkono:
5kale bonna abalina omubiri balimanya nga nze Mukama nsowodde ekitala kyange ne nkiggya mu kiraato kyakyo; tekiridda nate lwa kubiri.
6Kale ssa ebikkowe, ggwe omwana w'omuntu; amabega go nga gakusonjose era ng'oliko obuyinike bw'olissa ebikkowe bw'otyo bo nga balaba.
7Kale olunaatuuka bwe banaakugamba nti Lwaki ggwe okussa ebikkowe? n'oyogera nti Olw'ebigambo ebiwuliddwa, kubanga bijja: na buli mutima gulisaanuuka, n'emikono gyonna giriyongobera, na buli mwoyo gulizirika, n'amaviivi gonna galiba manafu ng'amazzi: laba, bijja, era birikolebwa, bw'ayogera Mukama Katonda.
8Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
9Omwana w'omuntu, lagula oyogere nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Yogera nti Ekitala, ekitala kiwagaddwa era kiziguddwa:
10kiwagaddwa kitte ekiwendo; kiziguddwa kibe ng'enjota: kale tunaasanyuka? omuggo ogw'omwana we gunyooma buli muti.
11Era kiweereddwayo okuzigulwa, kiryoke kikwatibwe: ekitala kiwagaddwa, weewaawo, kiziguddwa, okukiwaayo mu mukono gw'omussi.
12Kaaba era wowoggana, omwana w'omuntu: kubanga kiri ku bantu bange, kiri ku bakungu bonna aba Isiraeri: baweereddwayo eri ekitala wamu n'abantu bange: kale kuba ku kisambi kyo.
13Kubanga waliwo okusala omusango; era kiriba kitya omuggo nagwo ogugaya bwe guliba nga tegukyaliwo? bw'ayogera Mukama Katonda.
14Kale ggwe, omwana w'omuntu, lagula okube mu ngalo; ekitala kyongerwe omulundi ogw'okusatu, ekitala eky'abafumitiddwa okufa: kye kitala ky'omukulu, afumitiddwa okufa, ekiyingira mu bisenge byabwe.
15Ntadde omumwa gw'ekitala ku miryango gyabwe gyonna, omutima gwabwe gusaanuuke n'okwesittala kwabwe kwongerwe nnyo: ee! kifuuse ng'enjota, kisongoddwa olw'okutta.
16Weekuŋŋaanye, tambulira ku gwa ddyo; tala, tambulira ku gwa kkono; yonna yonna amaaso go gye goolekera.
17Era ndikuba mu ngalo, ne nzikusa ekiruyi kyange: nze Mukama nkyogedde.
18Ekigambo kya Mukama ne kinjijira nate nga kyogera nti
19Era, omwana w'omuntu, weeteekerewo amakubo abiri ekitala kya kabaka w'e Babulooni mwe kinaafuluma; ago gombi galiva mu nsi emu: olambe ekifo, okirambire ekkubo eridda mu kibuga we lisibuka.
20Oteekewo ekkubo ekitala mwe kinaafuluma okutuuka e Labba eky'abaana ba Amoni n'okutuuka eri Yuda mu Yerusaalemi ekiriko enkomera.
21Kubanga kabaka w'e Babulooni yayimirira mu masaŋŋanzira, amakubo gombi we gasibuka; okulagulwa: yazunzazunza obusaale, ne yeebuuza ku baterafi, n'akebera ekibumba.
22Mu mukono gwe ogwa ddyo nga mulimu obulaguzi obw'e Yerusaalemi, okusimba ebitomera, okwasamira akamwa okutta, okuyimusa eddoboozi n'okwogerera waggulu, okusimba ebitomera ku miryango, okutuuma ebifunvu, okuzimba ebigo.
23Era buliba gye bali ng'obulaguzi obutaliimu mu maaso gaabwe ababalayiridde ebirayiro: naye ajjukiza obutali butuukirivu, balyoke bakwatibwe.
24Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Kubanga mujjukizizza obutali butuukirivu bwammwe, kubanga okusobya kwammwe kubikkuddwako, ebibi byammwe n'okulabika ne birabika mu bikolwa byammwe byonna; kubanga mujjukiddwa, mulikwatibwa n'omukono.
25Naawe, ai ggwe omubi afumitiddwa okufa, omukulu wa Isiraeri, ajjiriddwa olunaku lwo, mu biro eby'obutali butuukirivu obw'enkomerero;
26bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ggyawo enkufiira otikkuleko engule: ekyo tekiriba nate bwe kityo: gulumiza ebikkakkanye, okkakkanye ebigulumizibwa.
27Ndikivuunika, ndikivuunika, ndikivuunika: so n'ekyo tekiriba nate, okutuusa nnyini kyo lw'alijja, era ndikimuwa.
28Naawe, omwana w'omuntu, lagula oyogere nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda eby'abaana ba Amoni n'eby'okuvuma kwabwe; oyogere nti Ekitala, ekitala kisowoddwa, kiziguliddwa ekiwendo, okukiriisa, kibeere ng'enjota:
29nga bwe baakulabira ebyayanga, nga bwe baakulagula eby'obulimba, okukuteeka ku nsingo z'ababi abafumitiddwa okufa abajjiddwa olunaku lwabwe, mu biro eby'obutali butuukirivu obw'enkomerero.
30Kizze mu kiraato kyakyo. Mu kifo mwe watonderwa, mu nsi mwe wazaalirwa, mwe ndikusalirira omusango.
31Era ndikufukirako ddala okunyiiga kwange; ndikufuuwako omuliro ogw'obusungu bwange: era ndikuwaayo mu mukono gw'abantu abali ng'ensolo ab'amagezi okuzikiriza.
32Oliba nku za muliro; omusaayi gwo guliba wakati mu nsi; tolijjukirwa nate: kubanga nze Mukama nkyogedde.