Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
31 verses
1Era nate ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
2Naawe, omwana w'omuntu, onoosala omusango, onoosala omusango ogw'ekibuga eky'omusaayi? kale kimanyise emizizo gyakyo gyonna.
3Era yogera nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ekibuga ekiyiwa omusaayi wakati mu kyo so, ekiseera kyakyo kituuke, ekikola ebifaananyi okweyonoona okwegwagwawaza!
4Ozzizza omusango ogw'omusaayi gwo gw'oyiye, era ogwagwawazibwa n'ebifaananyi byo bye wakola; era osembezezza ennaku zo, era otuuse ne mu myaka gyo: kyenvudde nkufuula ekivume eri amawanga, n'eky'okukudaalira eri ensi zonna.
5Abo abakuli okumpi, n'abo abakuli ewala balikukudaalira, ggwe alina erinnya ery'obugwagwa era ajjudde okusasamala.
6Laba, abakungu ba Isiraeri, buli muntu ng'obuyinza bwe bwe buli, baabanga mu ggwe okuyiwa omusaayi.
7Mu ggwe mwe baanyoomeranga kitaabwe ne nnyaabwe; wakati mu ggwe mwe baakoleranga omugenyi eby'okujooga: mu ggwe mwe baalyazaamaanyanga atalina kitaawe ne nnamwandu.
8Wanyoomanga ebintu byange ebitukuvu, n'oyonoonanga ssabbiiti zange.
9Abasajja abawaayiriza baabanga mu ggwe okuyiwa omusaayi: ne mu ggwe mwe baaliiranga ku nsozi: wakati mu ggwe mwe baakoleranga eby'obukaba.
10Mu ggwe mwe babikkulidde ku bwereere bwa kitaabwe: mu ggwe mwe bakwatira n'amaanyi omukazi eyali nga si mulongoofu olw'okweyawula kwe.
11Era waliwo akoze eky'omuzizo ne mukazi wa munne; era waliwo n'omulala ayonoonye n'obukaba muka mwana we; era waliwo n'omulala mu ggwe eyakwata mwannyina muwala wa kitaawe.
12Mu ggwe mwe baliiridde enguzi okuyiwa omusaayi; wasolooza amagoba ne bisukkirira, era baliraanwa bo wabaviisaamu amagoba ng'okwatiddwa omululu ng'ojooga, era onneerabidde nze, bw'ayogera Mukama Katonda.
13Laba nno, amagoba go agatali ga mazima ge wagoba kyennava ngakubira mu ngalo n'omusaayi gwo ogwabanga wakati mu ggwe.
14Omutima gwo guliyinza okugumiikiriza, oba emikono gyo giriyinza okuba n'amaanyi, mu nnaku mwe nditeeseza ebibyo? nze Mukama nkyogedde n'okukola ndikikola.
15Era ndikusaasaanyiza mu mawanga, ne nkutaataaganyiza mu nsi nnyingi; era ndikumalamu empitambi yo.
16Awo oligwagwawazibwa ku bubwo wekka mu maaso g'amawanga; kale olimanya nga nze Mukama.
17Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
18Omwana w'omuntu, ennyumba ya Isiraeri efuuse amasengere gye ndi: ne bonna bikomo na masasi na byuma na bbaati wakati mu kikoomi; bo masengere ga ffeeza.
19Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Kubanga mwenna mufuuse masengere, laba, kyendiva mbakuŋŋaanya mu Yerusaalemi wakati.
20Nga bwe bakuŋŋaanya effeeza n'ebikomo n'ebyuma n'amabaati n'amasasi mu kyoto wakati okubifukutako omuliro okubisaanuusa; bwe ntyo bwe ndikuŋŋaanya mmwe nga ndiko obusungu n'ekiruyi, era ndibateekawo ne mbasaanuusa.
21Weewaawo, ndibakuŋŋaanya ne mbafukutako omuliro ogw'obusungu bwange, nammwe mulisaanuuka wakati mu kyo.
22Ng'effeeza bw'esaanuukira wakati mu kyoto, nammwe bwe mulisaanuukira bwe mutyo wakati mu kyo; kale mulimanya nga nze Mukama mbafuseeko ekiruyi kyange.
23Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
24omwana w'omuntu, kigambe nti ggwe oli nsi eterongoosebwa, so tetonnyebwako nkuba ku lunaku olw'okunyiigirako.
25Waliwo okwekobaana kwa bannabbi baakyo wakati mu kyo ng'empologoma ewuluguma etaagulataagula omuyiggo: balidde emmeeme z'abantu; banyaga eby'obugagga n'eby'omuwendo omungi; bafudde bannamwandu baakyo okuba abangi wakati mu kyo.
26Bakabona baakyo bagiridde ekyejo amateeka gange, era bagwagwawazizza ebintu byange ebitukuvu: tebaawuddeemu bitukuvu n’ebitali bitukuvu, so tebayigiriza bantu okwawulamu ebitali birongoofu n'ebirongoofu, era bakwese amaaso gaabwe essabbiiti zange, nange nvumisibwa mu bo.
27Abakungu baakyo wakati mu kyo bali ng'emisege egitaagulataagula omuyiggo; okuyiwa omusaayi n'okuzikiriza emmeeme balyoke bafune amagoba agatali ga mazima.
28Era bannabbi baakyo babasiigiddeko ebbumba eritasekuddwa bulungi, nga balaba ebyayanga era nga babalagula eby'obulimba, nga boogera nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda, Mukama nga so tayogedde.
29Abantu ab'omu nsi bajooze, ne bagoberera okunyaga; weewaawo, beeraliikirizza omwavu n'eyeetaaga, era bajooze munnaggwanga nga bamulanga bwereere.
30Ne nnoonya omusajja mu bo eyandiddaabirizza olukomera n'ayimirira mu kituli ekiwaguddwa mu maaso gange ku lw'ensi, nneme okugizikiriza: naye ne ssiraba n'omu.
31Kyenvudde mbafukako okunyiiga kwange; mbamazeewo n'omuliro ogw'obusungu bwange: ndese ku mutwe gwabwe ekkubo lyabwe bo, bw'ayogera Mukama Katonda.