Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
31 verses
1Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
2Omwana w'omuntu, balagulireko abasumba ba Isiraeri, olagule obagambe, ogambe abasumba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Zibasanze abasumba ba Isiraeri abeeriisa bokka! abasumba tebandiriisizza ndiga?
3Mulya masavu, ne mwambala ebyoya, ne mutta ebya ssava; naye ne mutaliisa ndiga.
4Eteyinza temugissangamu maanyi; so temuwonyanga erwadde, so temusibanga emenyese, so temukomyangawo egobeddwa, so temunoonyanga ebuze; naye mwazifuganga n'amaanyi n'amawaggali.
5Ne zisaasaana olw'obutabaawo musumba: ne ziba kya kulya era ensolo zonna ez'omu nsiko ne zisaasaana.
6Endiga zange zaabulubuutira ku nsozi zonna ne ku buli kasozi akawanvu: weewaawo, endiga zange zaasaasaanira ku maaso g'ensi yonna; so tewali eyazinoonya newakubadde okuzibuuliriza.
7Kale, mmwe abasumba, muwulire ekigambo kya Mukama:
8Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, mazima kubanga endiga zange zaafuuka muyiggo, era endiga zange zaafuuka kya kulya eri ensolo zonna ez'omu nsiko olw'obutabaawo musumba, so n'abasumba bange tebanoonya ndiga zange, naye abasumba ne beeriisa bokka ne bataliisa ndiga zange;
9kale, mmwe abasumba, muwulire ekigambo kya Mukama;
10bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndi mulabe wa basumba; era ndivunaana endiga zange mu mukono gwabwe, ne mbalekesaayo okuliisa endiga; so n'abasumba tebalyeriisa bokka nate; era ndiwonya endiga zange mu kamwa kaabwe zireme okuba ekyokulya eri bo.
11Kubanga Mukama Katonda bw'ayogera bw'ati nti Laba, nze mwene, nze ndinoonya endiga zange, ne nzibuuliriza.
12Ng'omusumba bw'abuuliriza ekisibo kye ku lunaku lw'abeera mu ndiga ze ezisaasaanye, bwe ntyo bwe ndibuuliriza endiga zange; era ndiziwonya mu bifo byonna gye zaasaasaanira ku lunaku olw'ebire olw'ekizikiza.
13Era ndiziggya mu mawanga, ne nzikuŋŋaanya okuziggya mu nsi nnyingi, ne nzireeta mu nsi yaazo zo; era ndiziriisiza ku nsozi za Isiraeri ku lubalama lw'ensalosalo z'amazzi ne mu bifo byonna ebibeerwamu eby'ensi.
14Ndiziriisa omuddo omulungi, era ku nsozi ez'entikko ya Isiraeri kwe kuliba ekisibo kyabwe: eyo gye zirigalamira mu kisibo ekirungi, ne ziriira omuddo omugimu ku nsozi za Isiraeri.
15Nze mwene ndiriisa endiga zange ne nzigalamiza, bw'ayogera Mukama Katonda.
16Ndinoonya ekyo ekibuze ne nkomyawo ekyo ekigobeddwa ne nsiba ekimenyese ne nzisaamu amaanyi mu ekyo ekirwadde: n'ebya ssava n'eby'amaanyi ndibizikiriza; ndibiriisa n'omusango.
17Nammwe, ekisibo kyange, bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, nsala omusango ogw'ensolo n'ensolo, ogw'endiga ennume era n'embuzi ennume.
18Mukiyita kigambo kitono nga mwalya omuddo omulungi, naye ne kibagwanira okulinnyirira n'ebigere byammwe omuddo gwammwe ogwafikkawo? era nga mwanywa amazzi amateefu, naye ne kibagwanira okutabangula n'ebigere byammwe agafisseewo?
19N'endiga zange zirya ebyo bye mulinnyiridde n'ebigere byammwe, ne zinywa ago ge mutabangudde n'ebigere byammwe.
20Mukama Katonda kyava abagamba bw'ati nti Laba, nze, nze mwene, ndisala omusango ogw'ensolo eza ssava n'ogw'ensolo enkovvu.
21Kubanga musindisa embiriizi n'ebibegabega, ne mutomeza ezirwadde zonna amayembe gammwe okutuusa lwe muzisaasaanyiza ddala;
22kyendiva mponya ekisibo kyange, so teziriba nate muyiggo; nange ndisala omusango ogw'ensolo n'ensolo.
23Era ndissaawo ku zo omusumba omu, naye alizirunda, omuddu wange Dawudi; ye alizirunda, era ye aliba omusumba waazo.
24Nange Mukama ndiba Katonda waabwe, n'omuddu wange Dawudi aliba mulangira mu bo; nze Mukama nkyogedde.
25Era ndiragaana nabo endagaano ey'emirembe, era ndikomya mu nsi ensolo embi: kale balituula mu ddungu nga tebaliiko kye batya, ne beebakira mu bibira.
26Era ndibafuula omukisa n'ebifo ebyetoolodde olusozi lwange; era nditonnyesa oluwandaggirize mu ntuuko zaalwo; walibaawo empandaggirize ez'omukisa.
27N'omuti ogw'omu ttale gulibala ebibala byagwo, n'ettaka lirireeta ekyengera kyalyo, nabo baliba mu nsi yaabwe nga tebaliiko kye batya; kale balimanya nga nze Mukama, bwe ndiba nga mmaze okumenya ebisiba eby'ekikoligo kyabwe, era nga mbawonnyezza mu mukono gw'abo abaabafuula abaddu.
28So tebaliba muyiggo nate eri ab'amawanga, so n'ensolo ey'omu nsi teribalya; naye balituula nga tebaliiko kye batya so tewaliba alibatiisa.
29Era ndibayimusiza olusuku olw'okwatiikirira, so tebalimalibwawo nate n'enjala mu nsi, so tebalibaako nsonyi za b'amawanga nate.
30Kale balimanya nga nze Mukama Katonda waabwe ndi wamu nabo, era nga bo, ennyumba ya Isiraeri, be bantu bange, bw'ayogera Mukama Katonda.
31Nammwe, endiga zange, endiga ez'omu ddundiro lyange, muli bantu, nange ndi Katonda wammwe, bw'ayogera Mukama Katonda.