Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
15 verses
1Era nate ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
2Omwana w'omuntu; simba amaaso go okwolekera olusozi Seyiri; olulagulireko
3olugambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndi mulabe wo, ai olusozi Seyiri; era ndikugololerako omukono gwange, era ndikufuula okuba amatongo n'ekyewuunyo.
4Ndizisa ebibuga byo, naawe oliba matongo; kale olimanya nga nze Mukama.
5Kubanga wabanga n'obulabe obutaggwaawo, n'owaayo abaana ba Isiraeri eri obuyinza obw'ekitala mu biro mwe baalabira ennaku, mu biro eby'obutali butuukirivu obw'enkomerero:
6kale, nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, kyendiva nkuteekerateekera omusaayi, n'omusaayi gulikucocca: kubanga tewakyawa musaayi, omusaayi kyeguliva gukucocca.
7Bwe ntyo ndifuula olusozi Seyiri okuba ekyewuunyo n'amatongo; era ndimalawo okwo oyo ayitamu n'oyo akomawo.
8Era ndijjuza ensozi zaayo abaayo abattibwa: abattibwa n'ekitala baligwa ku nsozi zo ne mu biwonvu byo ne mu nsalosalo zo zonna ez'amazzi.
9Ndifukuula amatongo agataliggwaawo, so n'ebibuga byo tebirituulwamu: kale mulimanya nga nze Mukama.
10Kubanga wayogera nti Amawanga gano gombi n'ensi zino zombi biriba byange, naffe tuligirya; naye Mukama yali eyo:
11kale, nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, ndikola ng'obusungu bwo bwe buli era ng'obuggya bwo bwe buli bwe walaga okuva mu kukyawa kwe wabakyawa; era ndyemanyisa mu bo, bwe ndikusalira omusango.
12Kale olimanya nga nze Mukama mpulidde okuvvoola kwo kwonna kwe wavvoola eri ensozi za Isiraeri, ng'oyogera nti Zirekeddwawo, ziweereddwa ffe okuzirya.
13Era mwanneegulumirizaako n'akamwa kammwe, era munnyongeddeko ebigambo byammwe: nze mpulidde.
14Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ettaka lyonna bwe lirisanyuka, ndikufuula ggwe amatongo.
15Nga bwe wasanyukira obusika obw'ennyumba ya Isiraeri kubanga bwafuulwa amatongo, bwe ntyo bwe ndikukola ggwe: oliba nga ofuuliddwa amatongo, ai olusozi Seyiri ne Edomu yonna, yonna bwe yenkana: kale balimanya nga nze Mukama.