Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
17 verses
1Omugugu Kaabakuuku nnabbi gwe yalaba.
2Ai Mukama, ndituusa wa okukaaba, naawe nga tokkiriza kuwulira? Nkukaabirira olw'eby'ekyejo so tokkiriza kulokola.
3Onjoleseza ki obutali butuukirivu n'otunuulira obukyamu? kubanga okunyaga n'ekyejo biri mu maaso gange: era waliwo empaka, n'okuyomba kubaawo.
4Amateeka kye gavudde gaddirira, so n'omusango tegufulumanga n'akatono; kubanga omubi azingizza omutuukirivu omusango kyeguva gufuluma nga gunyooleddwa.
5Mulabe mu mawanga, musseeyo omwoyo, mwewuunye nnyo nnyini: kubanga nkolera omulimu mu nnaku zammwe, gwe mutalikkiriza newakubadde nga mugubuuliddwa.
6Kubanga, laba, ngolokosa Abakaludaaya, eggwanga eryo ekkakali eryanguyiriza; abasimba ennyiriri okutambula okubunya ensi bwe yenkana obugazi, okulya ennyumba ezitali zaabwe.
7Ba ntiisa, ba kitiibwa: omusango gwabwe n'obukulu bwabwe biva eri bo bennyini.
8Era embalaasi zaabwe zikira engo embiro, era nkambwe okusinga emisege egy'ekiro; n'abasajja baabwe abeebagala embalaasi bagoma: weewaawo, abasajja baabwe abeebagala embalaasi bava wala; babuuka ng'empungu eyanguwa okulya.
9Bajja lwa kyejo bonna; bavulumula amaaso gaabwe ng'embuyaga ez'ebuvanjuba; era bakuŋŋaanya abasibe ng'omusenyu.
10Weewaawo, asekerera bakabaka, n'abakungu baba ba kuduulirwa gy'ali: aduulira buli kigo; kubanga atuuma enfuufu n'akimenya.
11Awo aliyita ng'awulukuka ng'embuyaga, era alisukkirira n'azza omusango: ye amaanyi ge gabeera katonda we.
12Ggwe toli wa mirembe n'emirembe, ai Mukama Katonda wange, Omutukuvu wange? tetulifa. Ai Mukama, wamuteekerawo musango; naawe, ai Olwazi, wamunywereza kubuulirira.
13Ggwe alina amaaso agayinze obulongoofu obutatunuulira bubi, so toyinza kulaba bukyamu, lwaki ggwe okutunuulira abo abakuusakuusa, n'osirika omubi bw'aliira ddala omuntu amusinga obutuukirivu;
14n'ofuula abantu ng'ebyennyanja era ng'ebintu ebyewalula ebitaliiko abifuga?
15Abakwata bonna n'eddobo, abatega mu muya gwe, era abakuŋŋaanyiza mu kiragala kye: kyava asanyuka n'ajaguza.
16Kyava awaayo ssaddaaka eri omuya gwe, n'ayotereza ekiragala kye obubaane; kubanga olw'ebyo omugabo gwe kyeguva guba ogwa ssava, emmere ye n'eba nnyingi.
17Kale kyaliva afuka omuya gwe, n'atalekaayo kutta amawanga olutata?