Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
20 verses
1Ndiyimirira we nkuumira ne nneeteeka ku kigo, ne nnengera okulaba by'anaayogera nange, era bye mba nziramu eby'okwemulugunya kwange.
2Awo Mukama n'anziramu n'ayogera nti Wandiika okwolesebwa okwo, okwole bulungi ku bipande, akusoma adduke mbiro.
3Kubanga okwolesebwa okwo kukyali kwa ntuuko zaakwo ezaalagirwa, era kwanguwa okutuusa enkomerero, so tekulirimba: newakubadde nga kulwawo, kulindirirenga; kubanga tekulirema kujja, tekulirwawo.
4Laba, emmeeme ye yeegulumizizza, si ngolokofu mu ye: naye omutuukirivu aliba mulamu lwa kukkiriza kwe.
5Weewaawo, era omwenge mulyazaamaanyi, musajja wa malala, era atatuula waka; agaziya okwegomba kwe ng'amagombe, era ali ng'okufa, so tayinza kukkuta, naye n'akuŋŋaanyiza gy'ali amawanga gonna, ne yeetuumira ebika byonna.
6Abo bonna tebalimugererako lugero ne bamukokkolerako ekikokko ne boogera nti Zimusanze oyo ayaza ebyo ebitali bibye! alituusa wa? era eyeebinika emisingo!
7Tebaliyimuka nga tomanyiridde abo abalikuluma, tebalizuukuka abalikweraliikiriza, naawe n'oba munyago gye bali?
8Kubanga wanyaga amawanga mangi, ekitundu kyonna ekifisseewo ku mawanga balikunyaga; olw'omusaayi gw'abantu n'olw'ekyejo ekyagirirwa ensi n'ekibuga ne bonna abakibeeramu.
9Zimusanze oyo afunira ennyumba ye amagoba amabi, azimbe ekisu kye waggulu, awonyezebwe mu mukono gw'obubi!
10Oteeserezza ennyumba yo ensonyi, ng'omalawo amawanga mangi, era wasobya emmeeme yo ggwe.
11Kubanga ejjinja liryogerera waggulu nga liyima mu kisenge, n'omuti guliriddamu nga guyima mu misekese.
12Zimusanze oyo azimba ekibuga n'omusaayi, n'anyweza ekibuga n'obutali butuukirivu!
13Laba, tekyava eri Mukama w'eggye abantu okutengejjera omuliro, n'amawanga okweyooyeseza obutaliimu?
14Kubanga ensi erijjula okumanya ekitiibwa kya Mukama, ng'amazzi bwe gasaanikira ku nnyanja.
15Zimusanze oyo awa munne ebyokunywa, n'oyongerako n'obutwa bwo, n'okutamiiza n'omutamiiza olyoke otunuulire ensonyi zaabwe!
16Ojjudde ensonyi awaabanga ekitiibwa: naawe nywa, obeere ng'atali mukomole: ekikompe eky'omu mukono gwa Mukama ogwa ddyo kirikyusibwa eri ggwe, n'ensonyi ez'obuwemu ziriba ku kitiibwa kyo.
17Kubanga ekyejo ekyagirirwa Lebanooni kirikubikkako, n'okuzikirira kw'ensolo ezaabatiisanga; olw'omusaayi gw'abantu n'olw'ekyejo ekyagirirwa ensi n'ekibuga ne bonna abakituulamu.
18Ekifaananyi ekyole kigasa ki, omukozi waakyo n'okwola n'akyola; ekifaananyi ekisaanuuse n'omuyigiriza w'eby'obulimba bigasa ki, omukozi w'omulimu gwe n'okwesiga n'akyesiga, okukola essanamu ensiru!
19Zimusanze oyo agamba omuti nti Zuukuka; agamba ejjinja essiru nti Golokoka! Kino kinaayigiriza? Laba, kibikkiddwako zaabu ne ffeeza, so tewali mukka n'akamu kokka wakati mu kyo.
20Naye Mukama ali mu yeekaalu ye entukuvu: ensi zonna zibunire mu maaso ge.