Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
29 verses
1Kale naffe, bwe tulina olufu lw'abajulirwa olwenkana awo olutwetoolodde, twambulenga buli ekizitowa n'ekibi ekyegatta naffe, tuddukenga n'okugumiikiriza okuwakana okuteekeddwa mu maaso gaffe,
2nga tutunuulira Yesu yekka omukulu w'okukkiriza kwaffe era omutuukiriza waakwo, olw'essanyu eryateekebwa mu maaso ge eyagumiikiriza omusalaba, ng'anyooma ensonyi, n'atuula ku mukono ogwa ddyo ogw'entebe ya Katonda.
3Kubanga mumulowooze oyo eyagumiikiriza empaka embi ezenkana awo ez'abakola ebibi ku bo bennyini, mulemenga okukoowa, nga muddirira mu mmeeme zammwe.
4Temunnawakana okutuusa ku musaayi nga mulwana n'ekibi:
5era mwerabidde ekigambo ekibuulirira, ekyogera nammwe ng'abaana nti Mwana wange, tonyoomanga kukangavvula kwa Mukama, So toddiriranga bw'akunenyanga;
6Kubanga Mukama gw'ayagala amukangavvula, Era akuba buli mwana gw'akkiriza.
7Olw'okukangavvulwa kyemunaavanga mugumiikiriza; Katonda abakola ng'abaana; kuba mwana ki kitaawe gw'atakangavvula?
8Naye bwe munaabeeranga awatali kukangavvulwa, okugwana okututuukako fenna, muli beebolereze, so si baana.
9Nate twalina bakitaffe ab'omubiri gwaffe abaatukangavvulanga, ne tubassangamu ekitiibwa: tetulisinga nnyo okugonderanga Kitaawe w'emyoyo, ne tuba abalamu?
10Kubanga bo baatukangavvuliranga ennaku si nnyingi olw'okwegasa bo; naye oyo atukangavvula olw'okutugasa, tulyoke tufune omugabo ku butukuvu bwe.
11Okukakangavvulwa kwonna mu biro ebya kaakano tekufaanana nga kwa ssanyu wabula kwa nnaku: naye oluvannyuma kubala ebibala eby'emirembe eri abo abayigirizibwa mu kwo; bye by'obutuukirivu.
12Kale mugololenga emikono egirengejja, n'amaviivi agakozimba;
13era mukubirenga ebigere byammwe ama kubo amagolokofu, awenyera alemenga okugavaamu, naye awonenga buwonyi.
14Mugobererenga emirembe eri abantu bonna, n'obutukuvu, awatali obwo siwali aliraba Mukama:
15nga mutunuulira nnyo walemenga okuba omuntu yenna aweebuuka mu kisa kya Katonda; ekikolo kyonna eky'okukaawa kiremenga okuloka n'okubeeraliikiriza, era ne kigwagwawaza abangi;
16walemenga okubeera omwenzi, oba atatya Katonda, nga Esawu, eyatunda obusika bwe olw'akawumbo k'emmere akamu.
17Kubanga mumanyi nga era oluvannyuma bwe yayagala okusikira omukisa, n'agaanibwa (kubanga teyalaba bbanga lya kwenenyezaamu), newakubadde nga yagunoonya nnyo n'amaziga.
18Kubanga temuzze ku lusozi olukwatibwako era olwaka n'omuliro, n'eri ekizikiza ekikutte zzigizigi, ne kibuyaga,
19n'okuvuga kw'ekkondeere, n'eddoboozi ly'ebigambo; abaaliwulira ne beegayirira obutayongerwako kigambo lwa kubiri:
20kubanga tebaakiyinza ekyalagirwa nti Newakubadde n'ekisolo bwe kikoma ku lusozi, kirikubibwa amayinja:
21n'ebyalabika byali bya ntiisa bwe biti Musa n'okugamba n'agamba nti Ntidde nnyo era nkankanye:
22naye muzze ku lusozi Sayuuni, ne ku kibuga kya Katonda omulamu, Yerusaalemi eky'omu ggulu, n'eri obukumi bwa bamalayika,
23eri ekkuŋŋaaniro eddene era ekkanisa ey'ababereberye abaawandiikibwa mu ggulu, n'eri Katonda Omulamuzi wa bonna, n'eri emyoyo gy'abatuukirivu abaatuukirizibwa,
24n'eri Yesu omubaka w'endagaano empya, n'eri omusaayi ogw'okumansira ogwogera ebirungi okusinga ogwa Abbeeri.
25Mwekuume obutagaananga ayogera. Kubanga bali bwe bataalokoka, bwe baamugaana oyo eyabalabula ng'ayima mu nsi, ffe abakuba oyo atulabula ng'ayima mu ggulu tulisinga nnyo obutalokoka:
26eyakankanya ensi n'eddoboozi lye mu biro biri: naye kaakano yasuubiza, ng'ayogera nti Ekyasigadde omulundi gumu ndinyeenya, si nsi yokka, naye era n'eggulu.
27N'ekyo, nti Ekyasigadde omulundi gumu, kitegeeza okuggibwawo kw'ebyo ebikankanyizibwa, ng'ebyakolebwa, ebitakankanyizibwa biryoke bibeerewo.
28Kale, bwe tuweebwa obwakabaka obutakankanyizibwa, tubenga n'ekisa, kituweerezese okuweereza okusiimibwa Katonda n'okwegendereza n'okutya:
29kubanga Katonda waffe gwe muliro ogwokya.