Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
25 verses
1Okwagala ab'oluganda kubeerengawo.
2Temwerabiranga kusembeza bagenyi: kubanga olw'okwo waaliwo abaasembeza bamalayika nga tebamanyi.
3Mujjukirenga abasibe, ng'abasibirwa awamu nabo; era n'abalaba ennaku, kubanga nammwe muli mu mubiri.
4Okufumbiriganwa kwa kitiibwa eri bonna, n'ekitanda kirongoofu; kubanga abakaba n'abenzi Katonda alibasalira omusango.
5Mubeerenga n'empisa ey'obutaagalanga bintu; bye mulina bibamalenga: kubanga ye yennyini yagamba nti Sirikuleka n'akatono, so sirikwabulira n'akatono.
6N'okwaŋŋanga ne twaŋŋanga okwogera nti Mukama ye mubeezi wange; ssiritya: Omuntu alinkola ki?
7Mujjukirenga abo abaabafuga, abaababuulira ekigambo kya Katonda; era nga mutunuulira enkomerero y'empisa zaabwe, mugobererenga okukkiriza kwabwe.
8Yesu Kristo jjo ne leero aba bumu n'okutuusa emirembe n'emirembe.
9Temutwalibwatwalibwanga kuyigiriza okw'engeri ennyingi okuggya: kubanga kirungi omutima okunywezebwa n'ekisa; so si kunywezebwa na mpisa ez'okulyanga, ezitagasa abo abazitambuliramu.
10Tulina ekyoto abaweereza eby'omu weema kye batalagirwa kuliirangako.
11Kubanga ebisolo biri, ebitwalibwamu omusaayi gwabyo kabona asinga obukulu mu kifo ekitukuvu olw'ekibi, emibiri gyabyo gyokerwa bweru wa lusiisira.
12Era ne Yesu kyeyava abonabonera ebweru wa wankaaki, alyoke atukuze abantu n'omusaayi gwe ye.
13Kale tufulume okugenda gy'ali ebweru w'olusiisira nga twetisse ekivume kye.
14Kubanga wano tetulina kibuga ekibeerera, naye tunoonya ekigenda okujja.
15Kale mu oyo tuweereyo eri Katonda bulijjo ssaddaaka ey'ettendo, kye kibala eky'emimwa egyatula erinnya lye.
16Naye okukola obulungi n'okukkaanya temwerabiranga: kubanga ssaddaaka eziri ng'ezo zisanyusa nnyo Katonda.
17Muwulirenga abo ababafuga mubagonderenga: kubanga abo batunula olw'obulamu bwammwe, ng'abaliwoza bwe baakola; balyoke bakolenga bwe batyo n'essanyu so si na kusinda: kubanga ekyo tekyandibagasizza mmwe.
18Mutusabirenga: kubanga tumanyidde ddala nga tulina omwoyo omulungi, nga twagala okubanga n'empisa ennungi mu byonna.
19Era okusinga ennyo mbeegayirira okukolanga bwe mutyo, ndyoke nkomezebwewo mangu gye muli.
20Naye Katonda ow'emirembe, eyakomyawo okuva mu bafu omusumba w'endiga omukulu olw'omusaayi ogw'endagaano ey'olubeerera, ye Mukama waffe Yesu,
21abatuukirize mu buli kigambo kirungi okukolanga by'ayagala, ng'akolera mu ffe ekisiimibwa mu maaso ge, ku bwa Yesu Kristo; aweebwenga ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina.
22Naye mbabuulirira, ab'oluganda, mugumiikirizenga ekigambo eky'okubuulirira: kubanga mbawandiikidde mu bigambo bitono.
23Mumanye nga muganda waffe Timoseewo yateebwa; bw'alijja amangu, ndibalabira wamu naye.
24Mulamuse bonna abafuga, n'abatukuvu bonna. Ab'omu Italiya babalamusizza.
25Ekisa kibeerenga nammwe mwenna. Amiina.