Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
27 verses
1Yakobo, omuddu wa Katonda ne Mukama waffe Yesu Kristo, eri ebika ekkumi n'ebibiri ebyasaasaana, mbalamusizza.
2Mulowoozenga byonna okuba essanyu, baganda bange, bwe munaagwanga mu kukemebwa okutali kumu;
3nga mutegeera ng'okugezebwa kw'okukkiriza kwammwe kuleeta okugumiikiriza.
4Era omulimu gw'okugumiikiriza gutuukirirenga, mulyoke mubeere abaatuukirira, abalina byonna, abataweebuuka mu kigambo kyonna.
5Naye oba ng'omuntu yenna ku mmwe aweebuuka mu magezi asabenga Katonda atamma awa bonna so takayuka; era galimuweebwa.
6Naye asabenga mu kukkiriza, nga taliiko ky'abuusabuusa: kubanga abuusabuusa afaanana ng'ejjengo ery'ennyanja eritwalibwa empewo ne lisuukundibwa.
7Kubanga omuntu oyo talowoozanga ng'aliweebwa ekintu kyonna eri Mukama waffe
8omuntu ow'emyoyo ebiri, atanywera mu makubo ge gonna.
9Naye ow'oluganda omukopi yeenyumirizenga olw'obukulu bwe:
10era n'omugagga yeenyumirizenga olw'okukopawala kwe: kubanga aliggwaawo ng'ekimuli ky'omuddo.
11Kubanga enjuba evaayo n'omusana omungi n'ewotosa omuddo; n'ekimuli kyagwo ne kigwa n'obulungi bw'ekifaananyi kyagwo ne bubula: era n'omugagga bw'atyo bw'aliwotoka mu kutambula kwe.
12Alina omukisa omuntu agumiikiriza okukemebwa: kubanga bw'alimala okusiimibwa aliweebwa engule ey'obulamu, Mukama waffe gye yasuubiza abamwagala.
13Omuntu yenna bw'akemebwanga, tayogeranga nti Katonda ye ankema kubanga Katonda takemeka na bubi, era ye yennyini takema muntu yenna:
14naye buli muntu akemebwa, ng'awalulwa okwegomba kwe ye n'asendebwasendebwa.
15Okwegomba okwo ne kulyoka kuba olubuto ne kuzaala okwonoona: n'okwonoona okwo, bwe kumala okukula; ne kuzaala okufa.
16Temwerimbalimbanga, baganda bange abaagalwa.
17Buli kirabo kirungi na buli kitone kituukirivu kiva waggulu, nga kikka okuva eri Kitaffe ow'ebyaka, atayinza kuba na kufuukafuuka newankubadde ekisiikirize eky'okukyuka.
18Olw'okuteesa kwe yatuzaala n'ekigambo eky'amazima, tulyoke tubeere ng'omwaka omubereberye ogw'ebitonde bye.
19Ekyo mukimanyi, baganda bange abaagalwa. Naye buli muntu abeerenga mwangu wa kuwulira, alwengawo okwogera, alwengawo okusunguwala
20kubanga obusungu bw'omuntu tebukola butuukirivu bwa Katonda.
21Kale muteekenga wala obugwagwa bwonna n'obubi obusukkiridde, mutoolenga n'obuwombeefu ekigambo ekisigibwa ekiyinza okulokola obulamu bwammwe.
22Naye mubeerenga bakozi ba kigambo, so si bawulizi buwulizi, nga mwerimbalimba.
23Kubanga omuntu yenna bw'aba omuwulizi w'ekigambo, so nga si mukozi, oyo afaanana ng'omuntu eyeeraba amaaso ag'obuzaaliranwa bwe mu ndabirwamu:
24kubanga yeeraba n'agenda, amangu ago ne yeerabira bw'afaananye.
25Naye atunula mu mateeka amatuukirivu ag'eddembe n'anyiikiriramu, nga si muwulizi eyeerabira naye mukozi akola, oyo anaaweebwanga omukisa mu kukola kwe.
26Omuntu yenna bwe yeerowooza nga wa ddiini, bw'ataziyiza lulimi lwe, naye nga yeerimba omutima gwe eddiini y’oyo teriiko ky'egasa.
27Eddiini ennongoofu eteriimu kko mu maaso ga Katonda Kitaffe ye eno, okulambulanga abafuuzi ne bannamwandu mu bunaku bwabwe, n'okwekuumanga obutaba na mabala ag'omu nsi.