Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
26 verses
1Baganda bange, temubanga na kukkiriza kwa Mukama waffe Yesu Kristo ow'ekitiibwa, ate nemuba n'okusosolanga mu bantu.
2Kubanga bw'ayingira mu kkuŋŋaaniro lyammwe omuntu alina empeta eya zaabu ayambadde eby'obuyonjo, era n'omwavu ayambadde enziina n'ayingira,
3nammwe ne mwaniriza ayambadde ebyambalo eby'obuyonjo, ne mwogera nti Ggwe tuula wano awalungi era ne mugamba omwavu nti Ggwe yimirira eri, oba tuula wansi awali akatebe k'ebigere byange;
4nga temwawukanye mu mmwe mwekka, ne mufuuka abasazi b'ensonga ab'ebirowoozo ebibi?
5Muwulire, baganda bange abaagalwa; Katonda teyalonda abalina obwavu bw'omu nsi okubeeranga n'obugagga obw'okukkiriza, n'okusikira obwakabaka bwe yasuubiza abamwagala?
6Naye mmwe mwanyooma omwavu. Abagagga si be babajooga ne babawalula bennyini awasalirwa emisango?
7Singa bavuma erinnya eddungi lye muyitibwa?
8Naye bwe muba mutuukiriza etteeka lino eriri nga kabaka w'amateeka, nga bwe kyawandiikibwa nti Oyagalanga muntu munno nga bwe weeyagala wekka, mukola bulungi.
9Naye bwe munaasosolanga mu bantu, nga mukoze kibi, ne musingibwa amateeka ng’aboonoonyi
10Kubanga omuntu yenna bw'aba akwata amateeka gonna, naye n'asobya mu limu, ng'azzizza omusango gwa gonna.
11Kubanga oyo eyayogera nti Toyendanga, ate yayogera nti Tottanga. Kale bw'otoyenda naye n'otta, ng'ofuuse mwonoonyi w'amateeka.
12Mwogerenga era mukolenga bwe mutyo ng'abagenda okusalirwa omusango n'amateeka ag'eddembe.
13Kubanga omusango tegubaako kusaasirwa eri atasaasira: okusaasira kujaguliza ku musango.
14Kigasa kitya, baganda bange, omuntu bw'ayogera ng'alina okukkiriza, naye n'ataba na bikolwa? Okukkiriza okwo kuyinza okumulokola?
15Bwe wabaawo ow'oluganda omusajja oba mukazi nga bali bwereere, ng'emmere eya buli lunaku tebamala,
16era omu ku mmwe bw'abagamba nti Mugende n'emirembe mubugume, mukkute, naye ne mutabawa omubiri bye gwetaaga; kigasa kitya?
17Era n'okukkiriza bwe kutyo, bwe kutabaako bikolwa, kwokka nga kufudde.
18Naye omuntu alyogera nti Ggwe olina okukkiriza, nange nnina ebikolwa: ndaga okukkiriza kwo awatali bikolwa byo, nange olw'ebikolwa byange ndikulaga okukkiriza kwange.
19Okkiriza nga Katonda ali omu; okola bulungi: era ne bassetaani bakkiriza, ne bakankana.
20Naye oyagala okutegeera, ggwe omuntu ataliimu, ng'okukkiriza awatali bikolwa tekuliiko kye kugasa?
21Ibulayimu jjajjaffe teyaweebwa butuukirivu lwa bikolwa, kubanga yawaayo Isaaka omwana we ku kyoto?
22Olaba ng'okukkiriza kwakolera wamu n'ebikolwa bye, era okukkiriza kwe kwatuukirizibwa olw’ebikolwa bye:
23ekyawandiikibwa ne kituukirira ekyogera nti Ibulayimu n'akkiriza Katonda, ne kumubalirwa okuba obutuukirivu; n'ayitibwa mukwano gwa Katonda.
24Mulaba ng'omuntu aweebwa butuukirivu lwa bikolwa, so si lwa kukkiriza kwokka.
25Era ne Lakabu omwenzi bw'atyo teyaweebwa butuukirivu lwa bikolwa, kubanga yasembeza ababaka, n'abayisa mu kubo eddala?
26Kuba ng'omubiri awatali mwoyo bwe guba nga gufude, era n'okukkiriza bwe kutyo awatali bikolwa nga kufudde.