Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
20 verses
1Kale tuleke okwogera ku bigambo eby'olubereberye ebya Kristo, tuyitirire okutuuka mu bukulu; obutateekawo mulundi gwa kubiri musingi, kwe kwenenya ebikolwa ebifu, n'okukkiriza eri Katonda,
2okuyigiriza okw'okubatiza, n'okuteekako emikono, n'okuzuukira kw'abafu, n'omusango ogutaggwaawo.
3Era bwe tunaakola bwe tutyo Katonda bw'anaayagala.
4Kubanga abo abamala okwakirwa, ne balega ku kirabo eky'omu ggulu, ne bafuuka abassa ekimu mu Mwoyo Omutukuvu,
5ne balega ku kigambo ekirungi ekya Katonda ne ku maanyi ag'emirembe egigenda okujja,
6ne bagwa okubivaamu, tekiyinzika bo okubazza obuggya olw'okwenenya; nga beekomererera bokka omulundi ogw'okubiri Omwana wa Katonda, ne bamukwasa ensonyi mu lwatu.
7Kubanga ensi enywa enkuba egitonnyako emirundi emingi, n'ebala enva ezibasaanira abo b'erimirwa, efuna omugabo gw'omukisa eri Katonda:
8naye bw'ebala amaggwa ne ssere, tesiimibwa era eri kumpi n'okukolimirwa; enkomerero yaayo kwokebwa.
9Naye, abaagalwa, twetegerezza ku mmwe ebigambo ebisinga ebyo obulungi era ebiri okumpi n'obulokozi, newakubadde nga twogedde bwe tutyo:
10kubanga Katonda mutuukirivu tayinza kwerabira mulimu gwammwe n'okwagala kwe mwalaga eri erinnya lye, bwe mwaweereza abatukuvu, era mukyaweereza.
11Era twagala nnyo buli muntu ku mmwe okulaganga obunyiikivu obwo olw'okwetegerereza ddala essuubi eryo okutuusa ku nkomerero:
12mulemenga okubeera abagayaavu, naye abagoberera abo olw'okukkiriza n'okugumiikiriza abasikira ebyasuubizibwa.
13Kubanga, Katonda bwe yasuubiza Ibulayimu, bwe watali gw'ayinza kulayira amusinga obukulu, ne yeerayira yekka
14ng'ayogera nti Mazima okuwa omukisa nnaakuwanga omukisa, n'okwaza nnaakwazanga.
15Bw'atyo bwe yamala okugumiikiriza n'aweebwa ekyasuubizibwa.
16Kubanga abantu balayira asinga obukulu: ne mu mpaka zaabwe zonna ekirayiro kye kisalawo okukakasa.
17Katonda kyeyava ateeka wakati ekirayiro, ng'ayagala okubooleseza ddala ennyo abasika ab'ekyasuubizibwa okuteesa kwe bwe kutajjulukuka:
18olw'ebigambo ebibiri ebitajjulukuka, Katonda by'atayinza kulimbiramu, tulyoke tubeerenga n'ekitugumya ekinywevu ffe abadduka okunoonya ekyekwekero okunyweza essuubi eryateekebwa mu maaso gaffe;
19lye tulina ng'essika ery'obulamu, essuubi eritabuusibwabuusibwa era erinywevu era eriyingira munda w'eggigi.
20Yesu mwe yayingira omukulembeze ku lwaffe, bwe yafuuka kabona asinga obukulu emirembe gyonna ng'engeri ya Merukizeddeeki bw'eri.