Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
14 verses
1Kubanga buli kabona asinga obukulu, bw'aggibwa mu bantu, ateekebwawo ku bwa bantu mu bigambo ebiri eri Katonda alyoke awengayo ebirabo era ne ssaddaaka olw'ebibi:
2ayinza okukwata empola abatamanyi n'abakyamye, kubanga era naye yennyini yeetooloddwa obunafu;
3era olw'obwo kimugwanira nga ku lw'abantu, era bwe kityo ku lulwe yennyini, okuwangayo olw'ebibi.
4So omuntu yenna teyeetwalira yekka kitiibwa ekyo, wabula ng'ayitiddwa Katonda, era nga Alooni.
5Era bw'atyo Kristo teyeegulumiza yekka okufuuka kabona asinga obukulu, wabula oyo eyamugamba nti Ggwe oli Mwana wange, Leero nkuzadde ggwe:
6era nga bw'ayogera awalala nti Ggwe oli kabona emirembe gyonna ng'engeri ya Merukizeddeeki bw'eri.
7Oyo mu nnaku ze yabeereramu mu mubiri gwe, bwe yawaayo okwegayirira n'okusaba eri oyo eyayinza okumulokola mu kufa n'okukaaba ennyo n'amaziga, era bwe yawulirwa olw'okutya kwe Katonda,
8newakubadde nga Mwana, naye yayiga okugonda olw'ebyo bye yabonaabona:
9awo bwe yamala okutuukirizibwa, n'afuuka ensonga y'obulokozi obutaggwaawo eri abo bonna abamuwulira;
10Katonda gwe yayita kabona asinga obukulu ng'engeri ya Merukizeddeeki bw'eri.
11Gwe tulinako ebigambo ebingi okwogera era ebizibu okutegeeza, kubanga mufuuse baggavu b'amatu.
12Kubanga bwe kibagwanira okubeeranga abayigiriza olw'ebiro ebyayita, mwetaaga nate omuntu okubayigiriza ebisookerwako eby'olubereberye eby'ebigambo bya Katonda; era mufuuse abeetaaga amata, so si mmere nkalubo.
13Kubanga buli anywa amata nga tannamanya kigambo kya butuukirivu; kubanga mwana muto.
14Naye emmere enkalubo ya bakulu, abalina amagezi agayigirizibwa olw'okugakoza okwa wulanga obulungi n'obubi.