Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
16 verses
1Kale tutyenga nti okusuubiza okw'okuyingira mu kiwummulo nga bwe kukyatulekeddwa, omuntu yenna ku mmwe aleme kulabika nga takutuuseeko.
2Kubanga naffe twabuulirwa enjiri, era nga bo: naye ekigambo eky'okuwulira tekyabagasa bo, kubanga tebaagattibwa mu kukkiriza wamu n'abo abaawulira.
3Kubanga ffe abaamala okukkiriza tuyingira mu kiwummulo ekyo; nga bwe yayogera nti Nga bwe nnalayirira mu busungu bwange, Nti Tebaliyingira mu kiwummulo kyange: newakubadde ng'emirimu gyaggwa okuva mu kutondebwa kw'ensi.
4Kubanga waliwo w'ayogerera ku lunaku olw'omusanvu bw'ati, nti Katonda n'awummulira ku lunaku olw'omusanvu mu mirimu gye gyonna;
5era nate ne mu kino nti Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.
6Kale kubanga kisigaddeyo abalala okukiyingiramu, n'abo abaasooka okubuulirwa, enjiri ne batayingira olw'obutagonda,
7nate ayawula olunaku gundi, ng'ayogerera mu Dawudi oluvannyuma lw'ebiro ebingi bwe biti, nti Leero, nga bwe kyogeddwa olubereberye, Leero bwe munaawulira eddoboozi lye, Temukakanyaza mitima gyammwe.
8Kuba singa Yoswa yabawummuza, teyandyogedde ku lunaku lulala oluvannyuma lw'ebyo.
9Kale wasigaddeyo ekiwummulo kya ssabbiiti eri abantu ba Katonda.
10Kubanga ayingidde mu kiwummulo kye, era naye ng'awummudde mu mirimu gye, nga Katonda bwe yawummula mu gigye.
11Kale tufubenga okuyingira mu kiwummulo ekyo, omuntu yenna aleme okugwa mu ngeri eyo ey'obutagonda.
12Kubanga ekigambo kya Katonda kiramu, era kikozi, era kisala okusinga buli kitala kyonna eky'obwogi obubiri, era kiyitamu n'okwawula ne kyawula obulamu n'omwoyo, ennyingo n'obusomyo, era kyangu okwawula okulowooza n'okufumiitiriza okw'omu mutima.
13So siwali kitonde ekitalabika mu maaso ge: naye ebintu byonna byeruliddwa era bibikkuliddwa mu maaso g'oyo gwe tuleetera ebigambo byaffe.
14Kale bwe tulina kabona asinga obukulu omunene, eyayita mu ggulu, Yesu Omwana wa Katonda, tunywezenga okwatula kwaffe.
15Kubanga tetulina kabona asinga obukulu atayinza kulumirwa wamu naffe mu bunafu bwaffe; naye eyakemebwa mu byonna bumu nga ffe, so nga ye talina kibi.
16Kale tusemberenga n'obuvumu eri entebe ey'ekisa, tulyoke tuweebwe okusaasirwa, era tufune ekisa olw'okubeerwa bwe tukwetaaga.