Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
19 verses
1Kale, ab'oluganda abatukuvu, abalina omugabo mu kuyitibwa okw'omu ggulu, mulowooze Omutume era Kabona Asinga Obukulu ow'eddiini gwe twatula, Yesu;
2eyali omwesigwa eri oyo eyamulonda, era nga Musa bwe yali omwesigwa mu nnyumba ye yonna.
3Kubanga oyo asaanyizibwa ekitiibwa ekingi okusinga Musa, ng'azimba ennyumba bw'abeera n'ettendo eringi okusinga ennyumba.
4Kubanga buli nnyumba wabaawo agizimba; naye eyazimba byonna ye Katonda.
5Ne Musa yali mwesigwa ye mu nnyumba ye yonna ng'omuddu, olw'okutegeeza ebyali bigenda okwogerwa;
6naye Kristo yali mwesigwa ye ng'omwana ku nnyumba ye; naffe tuli nnyumba y'oyo, oba nga tunaakwatiranga ddala obuvumu bwaffe n'okwenyumiriza okw'okusuubira kwaffe nga binywedde okutuusa enkomerero.
7Kale, nga Omwoyo Omutukuvu bw'ayogera nti Leero bwe munaawulira eddoboozi lye,
8Temukakanyaza mitima gyammwe, nga mu kusunguwazibwa, Nga ku lunaku olw'okukemerwa mu ddungu,
9Bajjajjammwe kwe bankema, nga bangeza, Ne balaba ebikolwa byange emyaka amakumi ana.
10Kyennava nnyiigira emirembe egyo, Ne njogera nti Bakyama bulijjo mu mutima gwabwe: Naye abo tebaategeera makubo gange;
11Nga bwe nnalayira mu busungu bwange, Nti Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.
12Mwekuume, ab'oluganda, omutima omubi ogw'obutakkiriza gulemenga okuba mu muntu yenna ku mmwe, olw'okuva ku Katonda omulamu:
13naye mubuuliraganenga bulijjo bulijjo, okutuusa ekiseera nga kikyaliwo ekiyitibwa ekya leero; omuntu yenna ku mmwe alemenga okukakanyazibwa n'obulimba bw'ekibi:
14kubanga twafuuka abassa ekimu mu Kristo, oba nga tunaakwatiranga ddala okusuubira kwaffe okusoose nga kunywedde okutuusa enkomerero:
15nga bwe kikyayogerwa nti Leero bwe munaawulira eddoboozi lye, Temukakanyaza mitima gyammwe, nga mu kusunguwazibwa.
16Kubanga baani bwe baawulira abaamusunguwaza? si abo bonna abaava mu Misiri ne Musa?
17Era baani be yanyiigiranga emyaka amakumi ana? si abo abaayonoona, n'emirambo gyabwe ne gigwa mu ddungu?
18Era baani be yalayirira obutayingira mu kiwummulo kye, wabula obo abataagonda?
19Era tulaba nga tebaayinza kuyingira olw'obutakkiriza.