Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
18 verses
1Kyekivudde kitugwanira okusinga ennyo okulowooleza ddala ebyawulirwa, kabekasinge tuwaba ne tubivaako.
2Kuba oba ng'ekigambo ekyayogerwa bamalayika kyanywera, na buli kyonoono n'obutawulira byaweebwanga empeera ey'ensonga;
3ffe tuliwona tutya bwe tulireka obulokozi obukulu obwenkana awo? obwo obwasooka okwogerwa Mukama waffe, ne bulyoka bututegeerezebwa ddala abaabuwulira;
4era Katonda ng'ategeereza wamu nabo mu bubonero ne mu by'amagero era ne mu by'amaanyi ebitali bimu era ne mu birabo eby'Omwoyo Omutukuvu, nga bwe yayagalanga Yekka.
5Kubanga bamalayika si be yafuza ensi egenda okubaawo, gye twogerako.
6Naye waliwo ekifo omu we yategeereza, ng'ayogera nti Omuntu kiki, ggwe okumujjukira? Oba omwana w'omuntu, ggwe okumujjira?
7Wamukola okubulako akatono okuba nga bamalayika; Wamussaako engule ey'ekitiibwa n'ettendo, N'omufuza emirimu egy'emikono gyo:
8Wateeka ebintu byonna wansi w'ebigere bye. Kubanga mu kuteeka ebintu byonna wansi we teyaggyako kintu obutakiteeka wansi we. Naye kaakano tetunnalaba bintu byonna nga biteekeddwa wansi we.
9Naye tutunuulira oyo eyakolebwa okubulako akatono okuba nga bamalayika, ye Yesu, olw'okubonaabona okw'okufa ng'assibwako engule ey'ekitiibwa n'ettendo, olw'ekisa kya Katonda alyoke alege ku kufa ku lwa buli muntu.
10Kubanga kyamusaanira oyo ebintu byonna bwe biri ku bubwe era eyabikozesa byonna, ng'aleeta abaana abangi mu kitiibwa, okutuukiriza omukulu w'obulokozi bwabwe olw'ebibonoobono.
11Kubanga oyo atukuza era n'abo abatukuzibwa b'omu bonna: kyava alema okukwatibwa ensonyi okubayitanga ab'oluganda,
12ng'ayogera nti Ndibuulira baganda bange erinnya lyo, Ndikuyimba wakati mu kkuŋŋaaniro.
13Era nate nti Nze nnaamwesiganga oyo. Era nate nti Laba nze n'abaana Katonda be yampa.
14Kale kubanga abaana bagatta omusaayi n'omubiri, era naye yennyini bw'atyo yagatta ebyo; olw'okufa alyoke azikirize oyo eyalina amaanyi ag'okufa, ye Setaani;
15era alyoke abawe eddembe abo bonna abali mu buddu obulamu bwabwe bwonna olw'entiisa y'okufa.
16Kubanga mazima bamalayika si b'ayamba, naye ayamba zzadde lya Ibulayimu.
17Kyekyava kimugwanira mu byonna okufaananyizibwa baganda be, alyoke abeerenga kabona asinga obukulu ow'ekisa omwesigwa mu bigambo ebiri eri Katonda, olw'okutangirira ebibi by'abantu.
18Kubanga olw'okubonyaabonyezebwa ye yennyini ng'akemebwa, kyava ayinza okubayamba abo abakemebwa.