Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
14 verses
1Katonda edda bwe yayogereranga mu bitundu ebingi ne mu ngeri ennyingi eri bajjajjaffe mu bannabbi,
2mu nnaku zino ez'oluvannyuma yayogerera naffe mu Mwana, gwe yassaawo okuba omusika wa byonna, era gwe yatonza ebintu byonna;
3oyo bw'ali okumasamasa kw'ekitiibwa kye n'ekifaananyi kye ddala bw'ali, era bw'asitula ebintu byonna n'ekigambo eky'obuyinza bwe, bwe yamala okukola eky'okunaaza ebibi, n'atuula ku mukono ogwa ddyo ogw'Obukulu waggulu;
4ng'asinga obulungi bamalayika bw'ati nga bwe yasikira erinnya eribakira bo.
5Kubanga ani ku bamalayika gwe yali abuuliddeko nti Ggwe oli Mwana wange, Leero nkuzadde ggwe? era nate nti Nze nnaabeeranga Kitaawe gy'ali, Naye anaabeeranga Mwana gye ndi?
6Era nate bw'aleeta omubereberye mu nsi, ayogera nti Era bamalayika ba Katonda bonna bamusinzenga.
7Era ayogera ku bamalayika nti Afuula bamalayika be empewo, N'abaweereza be ennimi z'omuliro:
8naye ku Mwana ayogera nti Entebe yo, ai Katonda, ya lubeerera emirembe n'emirembe; N'omuggo ogw'obugolokofu gwe muggo ogw'obwakabaka bwo.
9Wayagala obutuukirivu, n'okyawa obujeemu; Katonda, Katonda wo, kyavudde akufukako Amafuta ag'okusanyuka okusinga banno.
10Era nti Ggwe, Mukama, ku lubereberye wassaawo emisingi gy'ensi, N'eggulu mulimu gwa mikono gyo:
11Ebyo biriggwaawo; naye ggwe oli wa lubeerera: N'ebyo byonna birikaddiwa ng'ekyambalo;
12Era olibizinga ng'essuuka, Ng'ekyambalo, ne biwaanyisibwa: Naye ggwe oba bumu, N'emyaka gyo tegiriggwaawo.
13Naye ku malayika ki gwe yali ayogeddeko nti Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo, Okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebe y'ebigere byo?
14Bonna si gy'emyoyo egiweereza, nga gitumibwa okuweereza olw'abo abagenda okusikira obulokozi?