Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
25 verses
1Pawulo, omusibe wa Kristo Yesu ne Timoseewo ow'oluganda, eri Firemooni omwagalwa era mukozi munnaffe,
2ne Apofiya ow'oluganda ne Alukipo mulwanyi munnaffe, n'ekkanisa eri mu nnyumba yo:
3ekisa n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo bibeerenga gye muli.
4Nneebaza Katonda wange ennaku zonna, nga nkwogerako mu kusaba kwange,
5bwe nnawulira okwagala kwo n'okukkiriza kw'olina eri Mukama waffe Yesu n'eri abatukuvu bonna;
6okussa ekimu okw'okukkiriza kwo kulyoke kukolenga omulimu, mu kutegeerera ddala buli kigambo ekirungi ekiri mu mmwe, olwa Kristo.
7Kubanga nnajaguza nnyo ne nsanyuka olw'okwagala kwo, kubanga emyoyo gy'abatukuvu wagiwummuza, ow'oluganda.
8Kale, newakubadde nga nnina obuvumu bwonna mu Kristo okukulagira ekisaana,
9naye olw'okwagala nkwegayirira bwegayirizi, kuba nfaanana nga bwe ndi, Pawulo omukadde, era kaakano omusibe wa Kristo Yesu:
10nkwegayirira olw'omwana wange, gwe nnazaalira mu busibe bwange, Onnessimo,
11ataakugasanga edda, naye kaakano atugasa ggwe nange:
12gwe nkomyawo gy'oli yennyini, ye gwe mwoyo gwange:
13nze gwe mbadde njagala okubeera naye gye ndi, alyoke ampeerezenga mu kifo kyo mu busibe bw'enjiri:
14naye ssaayagala kukola kigambo nga toteesezza, obulungi bwo buleme okubeera mu kuwalirizibwa, wabula mu kwagala.
15Kubanga mpozzi kyeyava ayawukana naawe ekiseera, olyoke obeerenga naye emirembe n'emirembe;
16nga takyali muddu nate, naye okusinga omuddu, ow'oluganda omwagalwa, okusinga ennyo gye ndi, naye okusingira ddala eri ggwe mu mubiri era ne mu Mukama waffe.
17Kale oba ng'ondowooza nze okubeera munno, musembeze oyo nga nze.
18Naye oba nga yakwonoona oba abanjibwa, mbalira nze ekyo;
19nze Pawulo mpandiise n'omukono gwange, nze ndisasula: nneme okukugamba nga nkubanja era naawe wekka nate.
20Kale, ow'oluganda, onsanyuse mu Mukama waffe: owummuze omwoyo gwange mu Kristo.
21Nkuwandiikidde nga nneesiga obugonvu bwo, nga mmanyi ng'olikola era okusinga bye njogera.
22Naye era nate onnongoosereze aw'okusula: kubanga nsuubira olw'okusaba kwammwe muliweebwa okundaba.
23Epafula musibe munnange mu Kristo Yesu, akulamusizza;
24ne Makko, Alisutaluuko, Dema, Lukka, bakozi bannange.
25Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga n'omwoyo gwammwe. Amiina.