Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
12 verses
1Isiraeri bwe yali omwana omuto, namwagala, ne mpita omwana wange okuva mu Misiri.
2Nga bwe beeyongera okubayita, bwe batyo bwe beeyongera okubavaako: baawangayo ssaddaaka eri Babaali, ne bootereza obubaane ebifaananyi ebyole.
3Era naye nayigiriza Efulayimu okutambula; nabawambaatira mu mikono gyange; naye tebaamanya nga nze nabawonya.
4Nabawalula n'emigwa egy'omuntu, n'ebisiba eby'okwagala; era nabanga gye bali ng'abo ababaggyako ekikoligo ekiri ku mba zaabwe, ne nteeka emmere mu maaso gaabwe.
5Talidda mu nsi y'e Misiri; naye Omwasuli ye aliba kabaka we, kubanga baagaana okudda.
6N'ekitala kirigwa ku bibuga bye, era kirirya ebisiba bye ne kimalawo olw'okuteesa kwabwe bo.
7Era abantu bange bamaliridde okudda ennyuma okunvaako: newakubadde nga babayita okudda eri oyo ali waggulu, tewali n'omu akkiriza okumugulumiza.
8Naakuwaayo ntya, Efulayimu? naakugabula ntya, Isiraeri? naakufuula ntya nga Aduma? naakussaawo ntya nga Zeboyimu? omutima gwange gukyuse munda yange, okusaasira kwange kwakidde wamu.
9Sirituukiriza busungu bwange obukambwe, siridda kuzikiriza Efulayimu: kubanga nze Katonda so siri muntu; Omutukuvu ali wakati wo: so siriyingira mu kibuga.
10Balitambula okugoberera Mukama, naye aliwuluguma ng'empologoma: kubanga aliwuluguma, n'abaana abato balijja nga bakankana okuva ebugwanjuba.
11Balijja nga bakankana ng'ennyonyi eva mu Misiri, era ng'ejjiba eriva mu nsi y'e Bwasuli: era ndibatuuza mu nnyumba zaabwe, bw'ayogera Mukama.
12Efulayimu anneetooloozezza obulimba, n'ennyumba ya Isiraeri enneetooloozezza obukuusa: naye Yuda akyafuga awali Katonda, era mwesigwa awali Omutukuvu.