Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
14 verses
1Efulayimu alya mpewo, era agoberera empewo ez'ebuvanjuba: tata kwongera bya bulimba na kuziika; era balagaana endagaano n'Obwasuli, n'amafuta gatwalibwa mu Misiri.
2Era Mukama alina empaka ne Yuda, era alibonereza Yakobo ng'amakubo ge bwe gali; alimusasula ng'ebikolwa bye bwe biri.
3Mu lubuto yamukwata muganda we ku kisinziiro; era bwe yakula n'aba n'obuyinza eri Katonda:
4weewaawo, yabanga n'obuyinza ku malayika n'awangula: yakaaba amaziga n'amwegayirira: yamulaba e Beseri, era eyo gye yayogerera naffe;
5Mukama Katonda ow'eggye; Mukama kye kijjukizo kye.
6Kale kyukira Katonda wo: okwatanga okusaasira n'omusango, omulindiriranga Katonda wo ennaku zonna.
7Musuubuzi, minzaani ey'obulimba eri mu mukono gwe: ayagala okujooga.
8Efulayimu n'ayogera nti Mazima ngaggawadde, nneefunidde ebintu: mu kutegana kwange kwonna tebalindabako butali butuukirivu bwonna obwandibadde ekibi.
9Naye nze ndi Mukama Katonda wo okuva mu nsi y'e Misiri; oliboolyawo ne nkutuuza mu weema nga ku nnaku ez'embaga ey'okwewombeekerako.
10Era nayogeranga ne bannabbi, era nnyongedde okwolesebwa; era nagereranga engero mu mukono gwa bannabbi.
11Gireyaadi butali butuukirivu? bo butaliimu bwereere; mu Girugaali gye basalira ente okuba ssaddaaka: weewaawo, ebyoto byabwe biri ng'ebifunvu mu mbibiro z'ennimiro:
12Awo Yakobo n'addukira mu nnimiro ya Alamu, Isiraeri n'aweereza omukazi, era n'alundira omukazi.
13Era Mukama n'aggya Isiraeri mu Misiri ku bwa nnabbi, era nnabbi ye yamuwonya.
14Efulayimu asunguwazizza nnyo nnyini: omusaayi gwe kyeguliva gusigala ku ye, n'ekivume kye Mukama we alikimusasula.