Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
15 verses
1Muwulire kino, mmwe bakabona, era muwulirize, mmwe ennyumba ya Isiraeri, era mutege amatu, mmwe ennyumba ya kabaka, kubanga omusango guno gwammwe; kubanga mwabanga ekyambika e Mizupa, era ekitimba ekyasuulibwa ku Taboli.
2Era abajeemu bagenze nnyo wansi nga batta; naye nze ndi munenya w'abo bonna.
3Mmanyi Efulayimu, so ne Isiraeri tankisibwa: kubanga kaakano, ai Efulayimu, okoze eby'obwenzi, Isiraeri ayonoonese.
4Ebikolwa byabwe tebibagaanye kukyukira Katonda waabwe: kubanga omwoyo ogw'obwenzi guli mu bo, so tebamanyi Mukama.
5Era amalala ga Isiraeri gaba mujulirwa gy'ali mu maaso ge: Isiraeri ne Efulayimu kyebaliva beesittala mu butali butuukirivu bwabwe: era ne Yuda alyesittalira wamu nabo.
6Baligenda n'embuzi zaabwe n'ente zaabwe okunoonya Mukama; naye tebalimulaba: abeeyawuddeko.
7Bakuusizza Mukama; kubanga bazadde abaana ab'amakiro: kaakano omwezi ogwakaboneka gulibalya wamu n'ennimiro zaabwe.
8Mufuuwe eŋŋombe mu Gibeya n'ekkondeere mu Laama: mulaye eŋŋoma e Besaveni; nti Ennyuma wo, ai Benyamini.
9Efulayimu alifuuka matongo ku lunaku olw'okunenyezebwako: mmanyisizza mu bika bya Isiraeri ebyo ebitalirema kubaawo.
10Abakungu ba Yuda bali ng'abo abajjulula akabonero k'ensalo: ndifuka obusungu bwange ku bo ng'amazzi.
11Efulayimu ajoogeddwa, abetenteddwa mu kusalirwa omusango; kubanga yakkiriza okutambula okugoberera ekiragiro.
12Kyenvudde mbeera eri Efulayimu ng'ennyenje, n'eri ennyumba ya Yuda ng'okuvunda.
13Efulayimu bwe yalaba endwadde ye, ne Yuda n'alaba ekiwundu kye, kale Efulayimu n'agenda eri Obwasuli n'atumira kabaka Yalebu: naye tayinza kubawonya, so talibavumula ekiwundu kyammwe.
14Kubanga ndiba eri Efulayimu ng'empologoma, era ng'empologoma ento eri ennyumba ya Yuda: nze, nze mwene, nditaagula ne nvaawo; nditwalira ddala so tewaliba wa kuwonya.
15Ndigenda ne nzirayo mu kifo kyange okutuusa lwe balikkiriza okusobya kwabwe, ne banoonya amaaso gange: mu kubonyaabonyezebwa kwabwe mwe balinyiikirira okunnoonya.