Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
11 verses
1Mujje tudde eri Mukama: kubanga ye yataagula, era ye alituwonya; ye yafumita; era ye alitunyiga.
2Ennaku bbiri nga ziyiseewo alitulamya: alitugolokosa ku lunaku olw'okusatu, naffe tuliba balamu mu maaso ge.
3Era tumanye, tunyiikire okumanya Mukama; okufuluma kwe kwa nkalakkalira ng'enkya: era alijja gye tuli ng'enkuba, ng'enkuba eya ddumbi efukirira ettaka.
4Ai Efulayimu, naakukola ntya? ai Yuda, naakukola ntya? kubanga obulungi bwammwe buliŋŋanga ekire eky'enkya era ng'omusulo oguggwaako nga bukyali.
5Kyennavanga mbatemya bannabbi; nnabassanga ebigambo eby'omu kamwa kange: n'emisango gyo giriŋŋanga omusana ogufuluma.
6Kubanga njagala ekisa so si ssaddaaka; n'okumanya Katonda okusinga ebiweebwayo ebyokebwa.
7Naye bo nga Adamu basobezza endagaano: eyo bankuusizza.
8Gireyaadi kibuga ky'abo abakola obutali butuukirivu, kisiigiddwako omusaayi.
9Era ng'ebibiina eby'abatemu bwe balindirira omusajja, ekibiina ekya bakabona bwe battira bwe batyo mu kkubo erigenda e Sekemu; weewaawo, bakoze eby'obukaba.
10Mu nnyumba ya Isiraeri mwe ndabidde ekigambo eky'ekivve: obwenzi bulabikidde eyo mu Efulayimu, Isiraeri ayonoonese.
11Era naawe, ai Yuda, ebikungulwa byakuteekerwawo, bwe ndikomyawo obusibe obw'abantu bange.