Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
16 verses
1Bwe njagala okuwonya Isiraeri, obutali butuukirivu bwa Efulayimu ne bulyoka bulabika, n'obubi bwa Samaliya; kubanga bakola eby'obulimba: n'omubbi ayingira munda, n'ekibiina eky'abatemu banyagira e bweru.
2So tebalowooza mu mitima gyabwe nga nze njijukira obubi bwabwe bwonna: kaakano ebikolwa byabwe bo bibazingizizza; biri mu maaso gange.
3Basanyusa kabaka n'obubi bwabwe, n'abakungu n'eby'obulimba byabwe.
4Bonna benzi; baliŋŋanga akabiga akakumibwa omwoki w'emigaati; alekera awo okuseesa omuliro ng'amaze okugoya obutta okutuusa lwe bunaamala okuzimbulukuka.
5Ku lunaku lwa kabaka waffe abakungu beerwaza n'eddalu ery'omwenge: yagolola omukono gwe wamu n'abanyoomi.
6Kubanga bategese omutima gwabwe ng'akabiga, nga bateega: obusungu bwabwe bwebaka ne bukeesa obudde; enkya bwaka ng'omuliro ogwaka.
7Bonna babugumye ng'akabiga, ne balya abalamuzi baabwe; bakabaka baabwe bonna bagudde: tewali ku bo ankaabira.
8Efulayimu yeetabula mu mawanga; Efulayimu mugaati ogutakyusibwa.
9Bannaggwanga balidde amaanyi ge, so tamanyi: weewaawo, atobese envi, so tamanyi.
10Era amalala ga Isiraeri ye mujulirwa gy'ali mu maaso ge: era naye tebaddanga eri Mukama Katonda waabwe so tebamunoonyanga, ebyo byonna newakubadde nga bimaze okubaawo.
11Era Efulayimu aliŋŋanga ejjiba essirusiru eritalina magezi: bakaabira Misiri, bagenda eri Obwasuli.
12Bwe baligenda, ndibasuulira ekitimba kyange; ndibassa wansi ng'ennyonyi ez'omu bbanga: ndibakangavvula ng'ekkuŋŋaaniro lyabwe bwe baawuliranga.
13Zibasanze kubanga bawabye okunvaako; okuzikirira kubatuukeko! kubanga bansobezza: newakubadde nga njagala okubanunula, era naye banjogeddeko eby'obulimba.
14So tebankaabidde n'omutima gwabwe, naye bawowogganira ku bitanda byabwe: bakuŋŋaanira eŋŋaano n'omwenge, banjeemera.
15Newakubadde nga nayigiriza ne nnyweza emikono gyabwe, era naye banteesezzaako obubi.
16Bakomawo naye si eri oyo ali waggulu; bali ng'omutego ogulimba: abakungu baabwe baligwa n'ekitala olw'okulaluka kw'olulimi lwabwe: kuno kwe kuliba okusekererwa kwabwe mu nsi y'e Misiri.