Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
25 verses
1Laba omuweereza wange gwe mpanirira; omulonde wange obulamu bwange gwe busanyukira: ntadde omwoyo gwange ku ye; alyolesa omusango eri ab'amawanga.
2Talireekaana so taliyimusa so taliwuliza ddoboozi lye mu luguudo.
3Olumuli olubetentefu talirumenya so n'enfuuzi ezinyooka talizizikiza: alyolesa omusango mu mazima.
4Talizirika so talikeŋŋentererwa okutuusa lw'alisimba omusango mu nsi; n'ebizinga biririndirira amateeka ge.
5Bw'atyo bw'ayogera Katonda, Mukama eyatonda eggulu n'alibamba; eyayanjuluza ensi n'ebyo ebigivaamu; awa omukka abantu abagiriko n'omwoyo abo abagitambulako:
6nze Mukama nakuyita mu butuukirivu, era naakwatanga ku mukono gwo era naakukuumanga, ne nkuwa okubanga endagaano y'abantu, okubanga omusana eri ab'amawanga;
7okuzibula amaaso g'abazibe b'amaaso, okuggya abasibe mu bunnya, n'abo abatuula mu kizikiza mu nnyumba ey'ekkomera.
8Nze Mukama; eryo lye linnya lyange: n'ekitiibwa kyange sirikiwa mulala, newakubadde ettendo lyange eri ebifaananyi ebyole.
9Laba, ebyasooka okubaawo bituuse, n'ebiggya mbibuulira: nga tebinnaba kulabika mbibabuulira.
10Mumuyimbire Mukama oluyimba oluggya, n'ettendo lye okuva ku nkomerero y'ensi; mmwe abaserengetera ku nnyanja ne byonna ebigirimu, ebizinga n'ababituulako.
11Eddungu n'ebibuga byamu biyimuse eddoboozi lyabyo, ebyalo Kedali mw'atuula; abatuula mu Seera bayimbe, boogerere waggulu nga bayima ku ntikko z'ensozi.
12Bamuwe Mukama ekitiibwa, era babuulire ettendo lye mu bizinga.
13Mukama alifuluma ng'ow'amaanyi; alibakwasa obuggya ng'omutabaazi: alireekaana, weewaawo, alyogerera waggulu; alikola abalabe be eby'amaanyi.
14Naludde okusirika; nabeerera awo ne nzibiikiriza: kaakano naayogerera waggulu ng'omukazi alumwa okuzaala; naalaakiira ne mpejjerawejjera wamu.
15Ndizikiriza ensozi n'obusozi, ne mpotosa emiddo gyako gyonna; era ndifuula emigga ebizinga ne nkaliza ebidiba.
16Era ndireeta abazibe b'amaaso mu kkubo lye batamanyi; mu mpitiro ze batamanyi mwe ndibayisa: ndifuula ekizikiza okuba omusana mu maaso gaabwe, n'ebifo ebikyamu ndibigolola. Ebyo ndibikola so siribaleka.
17Balikyusibwa okudda ennyuma, balikwasibwa ensonyi nnyingi, abeesiga ebifaananyi ebyole, abagamba ebifaananyi ebisaanuuse nti Mmwe muli bakatonda baffe.
18Muwulire, mmwe abaggavu b'amatu; mutunule, mmwe abazibe b'amaaso, mulyoke mulabe.
19Ani omuzibe w'amaaso wabula omuweereza wange? oba muggavu wa matu wabula omubaka wange gwe ntuma? ani omuzibe w'amaaso ng'oyo eyatabagana nange era omuzibe w'amaaso ng'omuweereza wa Mukama?
20Olaba bingi naye teweetegereza; amatu ge gagguse naye tawulira.
21Mukama yasiima, olw'obutuukirivu bwe, okukuza amateeka n'okugassaamu ekitiibwa.
22Naye bano be bantu abaanyagibwa ne batemulwa bo bonna bateegebwa mu bunnya, era bakwekeddwa mu nnyumba ez'amakomera: ba kunyagibwa so tewali awonya; ba kukambuulibwa so tewali ayogera nti Zzaayo.
23Ani ku mmwe anaategera ekyo okutu? anaategereza n'awulira olw'ebiro ebigenda okujja?
24Ani eyawaayo Yakobo okukambuulibwa ne Isiraeri eri abanyazi? si Mukama? oyo gwe twayonoona, so tebaaganya kutambulira mu makubo ge, so tebaagondera mateeka ge.
25Kyeyava amufukako ekiruyi eky'obusungu bwe n'amaanyi ag'entalo; ne kimwokya enjuyi zonna era teyamanya; era kyamusonsomola, era teyakissaako mwoyo.