Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
28 verses
1Naye kaakano bw'atyo bw'ayogera Mukama eyakutonda, ggwe Yakobo, era eyakubumba, ggwe Isiraeri, nti Totya, kubanga nakununula; nakuyita erinnya lyo, oli wange.
2Bw'onooyitanga mu mazzi, naabeeranga naawe; ne mu migga, tegirikusaanyaawo: bw'onootambulanga okuyita mu muliro, toosiriirenga; so n'omuliro tegulyakira ku ggwe.
3Kubanga nze ndi Mukama Katonda wo, Omutukuvu wa Isiraeri, omulokozi wo; nawaayo Misiri okuba ekinunulo kyo, Kuusi ne Seba ku lulwo.
4Kubanga wali wa muwendo mungi mu maaso gange, era wa kitiibwa, nange nakwagala; kyendiva mpaayo abasajja ku lulwo n'amawanga ku lw'obulamu bwo.
5Totya; kubanga nze ndi wamu naawe: ndireeta ezzadde lyo okuliggya ebuvanjuba ne nkukuŋŋaanya okuva ebugwanjuba;
6ndigamba obukiika obwa kkono nti Waayo; n'obukiika obwa ddyo nti Togaana nabo; leeta batabani bange okubaggya ewala ne bawala bange okuva ku nkomerero y'ensi;
7buli muntu eyatuumibwa erinnya lyange era gwe nnatondera ekitiibwa kyange; nze namubumba; weewaawo, namukola.
8Fulumya abazibe b'amaaso abalina amaaso n'abaggavu b'amatu abalina amatu.
9Amawanga gonna gakuŋŋaanyizibwe wamu n'abantu beetabe: ani ku bo ayinza okubuulira ekyo n'atulaga ebyasooka okubaawo? baleete abajulirwa baabwe baweebwe obutuukirivu: oba bawulire boogere nti Bya mazima.
10Mmwe muli bajulirwa bange, bw'ayogera Mukama n'omuweereza wange gwe nnalonda mulyoke mumanye munzikirize mutegeere nga nze nzuuyo; tewali Katonda eyabumbibwa okusooka nze, so tewaliba alinziririra.
11Nze, nze mwene, nze Mukama so tewali mulokozi wabula nze.
12Nze nabuulira era nalokola era nalaga, so tewabanga mu mmwe katonda mulala: kye mubeeredde abajulirwa bange, bw'ayogera Mukama, nange ndi Katonda.
13Weewaawo, omusana kasookedde gubaawo era nze nzuuyo; so tewali ayinza okuwonya mu mukono gwange: ndikola omulimu, era ani ali guziyiza?
14Bw'atyo bw'ayogera Mukama omununuzi wammwe, Omutukuvu wa Isiraeri, nti Ku lwammwe natuma e Babulooni, era ndibaserengesa bonna ng'abadduse, be Bakaludaaya, mu byombo eby'okusanyuka kwabwe.
15Nze ndi Mukama Omutukuvu wammwe, Omutonzi wa Isiraeri, Kabaka wammwe.
16Bw'atyo bw'ayogera Mukama akuba oluguudo mu nnyanja n'ekkubo mu mazzi ag'amaanyi.
17afulumya eggaali n'embalaasi eggye n'obuyinza; bagalamira wamu, tebaligolokoka; bazikiridde, bazikidde ng'enfuuzi: nti
18Temujjukira ebyasooka okubaawo, so temulowooza bigambo bya dda.
19Laba, ndikola ekigambo ekiggya kaakano kirirabika; temulikimanya ndikuba oluguudo ne mu lukoola, ne ndeeta emigga mu ddungu.
20Ensolo ez'omu nsiko zirinzisaamu ekitiibwa, ebibe ne bamaaya kubanga ngaba amazzi mu lukoola n'emigga mu ddungu, okunywesa abantu bange, abalonde bange:
21abantu be nneebumbira nzekka boolesenga ettendo lyange.
22Naye tonkaabiranga, ggwe Yakobo; naye wantamwa, ggwe Isiraeri.
23Tondeeteranga nsolo ntono ey'ebibyo ebiweebwayo ebyokebwa; so tonzisaamu kitiibwa na ssaddaaka zo. Sikuweerezesanga n'ebiweebwayo so sikukooyesanga na mugavu.
24Tonguliranga mmuli mpoomerevu na ffeeza, so tonzikusanga na masavu ga ssaddaaka zo naye ggwe wampeerezesa n'ebibi byo, wankooyesa n'obutali butuukirivu bwo.
25Nze, nze mwene, nze nzuuyo asangula ebyonoono byo ku lwange nze; so sirijjukira bibi byo.
26Njijukiza; tuwoze fembi: leeta ensonga yo olyoke oweebwe obutuukirivu.
27Kitaawo eyasooka yayonoona n'abategeeza bo bansobya.
28Kyendiva nvumisa abakulu ab'omu watukuvu, era ndifuula Yakobo ekikolimo ne Isiraeri ekivume.