Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
28 verses
1Naye kaakano wulira, ggwe Yakobo omuweereza wange: ne Isiraeri gwe nnalonda:
2bw'atyo bw'ayogera Mukama eyakukola naakubumba okuva mu lubuto, anaakuyambanga, nti Totya, ggwe Yakobo omuweereza wange; naawe Yesuluni gwe nnalonda.
3Kubanga ndifuka amazzi ku oyo alumiddwa ennyonta n'emigga ku ttaka ekkalu: ndifuka omwoyo gwange ku zzadde lyo n'omukisa gwange ku nda yo:
4era baliroka mu muddo ng'enzingu ku mabbali g'emigga.
5Walibaawo aligamba nti Nze wa Mukama; n'omulala alyetuuma eriinya lya Yakobo; n'omulala aliwandiika n'omukono gwe nga wa Mukama, ne yeetuuma erinnya lya Isiraeri.
6Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Kabaka wa Isiraeri, era omununuzi we Mukama ow'eggye nti Nze ndi wa lubereberye era nze ndi wa komerero; so tewali Katonda wabula nze.
7Era ani, nga nze, aliyita n'akibuulira n'akinteekerateeera, kasookedde nzizaawo eggwanga ery'edda? n'ebyo ebijja okujja n’ebyo ebiribaawo babibuulire.
8Temutya so temutekemuka: obw'edda saakubuulira ne nkiraga? nammwe muli bajulirwa bange. Waliwo Katonda wabula nze? weewaawo, tewali Lwazi; nze siriiko lwe nmanyi.
9Abo abakola ekifaananyi ekyole bonna birerya; n'ebintu byabwe eby'okwesiima tebiriiko kye birigasa: n'abajulirwa baabwe bo tebalaba so tebamanyi; balyoke bakwatibwe ensonyi.
10Ani eyakola katonda oba eyasaanuusa ekifaananyi ekyole ekitaliiko kye kigasa?
11Laba, banne bonna balikwatibwa ensonyi; n'abakozi ba mu bantu: bonna bakuŋŋaanyizibwe wamu, bayimirire; balitya balikwatirwa wamu ensonyi.
12Omuweesi ng'aweesa embazzi n'ayisa mu manda n'agisennyenta n'ennyondo n'agisaaza n'omukono gwe ogw'amaanyi: weewaawo, ng'alumwa enjala amaanyi ge ne gaggwaawo; nga tanywa ku mazzi n'ayongobera.
13Omubazzi ng'aleega omugwa; ng'akiramba n'ekkalaamu; ng'akisaanya n'eranda n'akiramba kyonna n'ekyuma ekigera, n'akifaananya ekifaananyi ky'omuntu, ng'obulungi bw'omuntu bwe buli, okutuulanga mu nnyumba.
14Nga yeetemera emivule n'atwala enzo n'omuyovu, era yeenywerezaako ogumu ku miti egy'omu kibira: ng'asimba enkanaga enkuba n'egimeza.
15Awo eriba ya nku eri omuntu; n'agitwalako n'ayota; weewaawo, ng'agikoleeza n'ayokya omugaati: weewaawo, ng'akola katonda n'akisinza; ng'akola ekifaananyi ekyole n'akivuunamira.
16Ekitundu kyakyo ng'akyokya mu muliro; ku kitundu kyakyo kw'aggya okulya ennyama; ng'ayokya njokye n'akkuta: weewaawo, ng'ayota n'ayogera nti Owa, mbugumye, ndabye omuliro:
17n'ekitundu kyakyo ekifisseeko ng'akifuula katonda, ekifaananyi kye ekyole: ng'akivuunamira n'asinza n'akyegayirira n'ayogera nti Mponya; kubanga ggwe katonda wange.
18Tebamanyi so tebalowooza: kubanga azibye amaaso gaabwe n'okuyinza ne batayinza kulaba; n'emitima gyabwe n'okuyinza ne batayinza kutegeera.
19So tewali ajjukira, so tewali kumanya newakubadde okutegeera n'okwogera n'ayogera nti Ekitundu kyakyo nkyokezza mu muliro, weewaawo, era nsiise omugaati ku manda gaakyo; njokezza ennyama ne ngirya: ate ekitundu kyakyo ekifisseeko n'akifuula eky'omuzizo? n'avuunamira ekisiki ky'omuti?
20Alya evvu: omutima ogwalimbibwa gumukyamizza n'okuyinza n'atayinza kuwonya bulamu bwe newakubadde okwogera nti Eky'obulimba tekiri mu mukono gwange ogwa ddyo?
21Ebyo bijjukire, ggwe Yakobo; naawe Isiraeri, kubanga ggwe muweereza wange: nze nakubumba; ggwe muweereza wange: ggwe Isiraeri, sirikwerabira.
22Nsangudde ebyonoono byo ng'ekire ekiziyivu, n'ebibi byo ng'ekire: komawo gye ndi; kubanga nakununula.
23Yimba, ggwe eggulu, kubanga Mukama ye akikoze; mwogerere waggulu, mmwe enjuyi eza wansi ez'ensi; mubaguke okuyimba, mmwe ensozi, ggwe ekibira na buli muti ogulimu: kubanga Mukama yanunula Yakobo era alyegulumiriza mu Isiraeri.
24Bw'atyo bw'ayogera Mukama, omununuzi wo, era eyakubumba okuva mu lubuto, nti Nze Mukama akola byonna; abamba eggulu nzekka; ayanjuluza ensi; ani ali awamu nange?
25atta obubonero obw'abalimba era alalusa abalogo; akyusa abagezigezi okudda ennyuma ne nsiruwaza amagezi gaabwe:
26anyweza ekigambo eky'omuweereza we ne ntuukiriza okuteesa kw'ababaka be; ayogera ku Yerusaalemi nti Kirituulwamu; ne ku bibuga bya Yuda nti Birizimbibwa, nange ndigolokosa ebifo byamu ebyazika:
27agamba obuziba nti Kalira, nange ndikaliza emigga:
28ayogera ku Kuulo nti Musumba wange era alituukiriza bye njagala byonna: n'okwogera ne njogera ku Yerusaalemi nti Kirizimbibwa; era agamba yeekaalu nti Omusingi gwo guliteekebwawo.