Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
7 verses
1Ekigambo kya Mukama ekyajjira Yeremiya nnabbi eky'Abafirisuuti, Falaawo nga tannakuba Gaza.
2Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, amazzi gatumbiira agava obukiika obwa kkono, era galifuuka omugga ogwanjaala, era galyanjaala mu nsi ne byonna ebigirimu, ekibuga n'abo abakituulamu: n'abantu balikaaba, n'abo bonna ababeera mu nsi baliwowoggana.
3Olw'emisinde gy'okusamba kw'ebinuulo by'ensolo ze ez'amaanyi, olw'okuwuluuka kw'amagaali ge, olw'okuvuuma okwa bannamuziga be, bakitaabwe kyebava balema okutunula ennyuma eri abaana baabwe, emikono gyabwe olw'okuba eminafu;
4olw'olunaku lujja okunyaga Abafirisuuti, okumalawo ku Ttuulo ne Sidoni buli mubeezi asigaddewo: kubanga Mukama alinyaga Abafirisuuti, ekitundu ekifisseewo eky'ekizinga Kafutoli.
5Gaza aliko ekiwalaata; Asukulooni amaliddwawo, ekitundu ekifisseewo ku kiwonvu kyabwe: olituusa wa okwesala?
6Ai ggwe ekitala kya Mukama, olituusa wa obutatereera? weeteke mu kiraato kyo; wummula osirike.
7Oyinza otya okutereera, kubanga Mukama aliko ky'akukuutidde? akiragidde okulwana ne Asukulooni n'ettale ly'ennyanja.