Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
47 verses
1Ebya Mowaabu. Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Zisanze Nebo! kubanga bakizisizza; Kiriyasayimu kikwasibbwa ensonyi, kimenyeddwa: Misugabu kikwasibbwa ensonyi, kisuuliddwa.
2Ettendo lya Mowaabu terikyaliwo; bakiteeserezza obubi mu Kesubooni, nti Mujje tukimalewo obutaba ggwanga. Era naawe, ai Madumeni, olisirisibwa; ekitala kirikucocca.
3Eddoboozi ery'okuleekaana eriva e Kolonayimu, okunyaga n'okuzikiriza okunene!
4Mowaabu azikiridde; abaana baamu abato bawulizizza okukaaba.
5Kubanga balyambukira awalinnyirwa e Lakisi nga bakaaba amaziga agatata; awaserengeterwa e Kolonayimu bawulidde obuyinike obw’okukaaba olw’okuzikirira.
6Mudduke muwonye obulamu bwammwe, mufaanane omwoloola oguli mu ddungu.
7Kubanga olw'okwesiga emirimu gyo n'eby'obugagga bwo, era naawe olikwatibwa: ne Kemosi alivaayo aligenda mu busibe, bakabona be n'abakungu be wamu.
8N'omunyazi alituuka ku buli kibuga, so tewaliba kibuga ekiriwona; era n'ekiwonvu kiribula, n'olusenyi lulizikirizibwa; nga Mukama bwe yayogera.
9Mumuwe Mowaabu ebiwaawaatiro alyoke abuuke yeegendere: n'ebibuga bye birifuuka amatongo nga tewali wa kutuulamu.
10Akolimiddwa oyo akola omulimu gwa Mukama ng'atenguwa, era akolimiddwa oyo aziyiza ekitala kye mu musaayi.
11Mowaabu yessizza okuva mu buto bwe, era teyeesengezze ebbonda lye, tattululirwanga mu bita so tagendanga mu busibe: ensa ye kyeva ebeera mu ye, n'akawoowo ke tekajjulukukanga.
12Kale, laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe ndimutumira abo abattulula, kale balimuttulula; era balimalamu ebintu bye, ne bamenyaamenya ensuwa zaabwe.
13Kale Mowaabu alikwatirwa Kemosi ensonyi, ng'ennyumba ya Isiraeri bwe baakwatirwa ensonyi Beseri, obwesige bwabwe.
14Mwogera mutya nti Tuli basajja ba maanyi era basajja bazira okulwana?
15Mowaabu bamuzisizza, era batabadde ebibuga byayo, n'abalenzi baayo abalonde baserengese okuttibwa, bw'ayogera Kabaka, erinnya lye Mukama w'eggye.
16Obuyinike bwa Mowaabu bunaatera okutuuka, n'ennaku ze zanguwa mangu.
17Mmwe mwenna abamwetoolodde mumukungubagire, nammwe mwenna abamanyi erinnya lye; mwogere nti omuggo ogw'amaanyi nga gumenyese, oluga olulungi!
18Ai ggwe omuwala, atuula mu Diboni, serengeta ove ku kitiibwa kyo, otuule ng'olumiddwa ennyonta; kubanga omunyazi wa Mowaabu akutabadde, azikirizza ebigo byo.
19Ai ggwe atuula mu Aloweri, yimirira ku mabbali g'ekkubo okette: buuza omusajja adduka, n'omukazi awona; oyogere nti Ebifaayo?
20Mowaabu akwasibbwa ensonyi; kubanga kimenyesemenyese: wowoggana okaabe; mukibuulire mu Alunoni nga Mowaabu bakizisizza.
21N'omusango gutuuse ku nsi ey'ensenyi; ku Koloni ne ku Yaza ne ku Mefaasi;
22ne ku Diboni ne ku Nebo ne ku Besudibulasayimu;
23ne ku Kiriyasayimu ne ku Besugamuli ne Besumyoni;
24ne ku Keriyoosi ne ku Bozula ne ku bibuga byonna eby'omu nsi ya Mowaabu ebiri ewala n'ebiri okumpi.
25Ejjembe lya Mowaabu lisaliddwako, n'omukono gwe gumenyese, bw'ayogera Mukama.
26Mumutamiize; kubanga yeegulumizanga eri Mukama: ne Mowaabu alyekulukuunya mu bisesemye bye, era naye alisekererwa.
27Kubanga Isiraeri teyali wa kusekererwa gy'oli? yalabika mu babbi? kubanga buli lw'omwogerako onyeenya omutwe gwo.
28Ai mmwe abatuula mu Mowaabu, muleke ebibuga mutuule mu mayinja; mufaanane kaamukuukulu akakola ekisu kye mu mbiriizi z'akamwa k'obunnya.
29Tuwulidde eby'amalala ga Mowaabu nga wa malala mangi nnyo; okwegulumiza kwe n'amalala ge n'ekitigi kye n'essukuti ery'omutima gwe.
30Mmanyi obusungu bwe, bw'ayogera Mukama, nga si kintu; okwenyumiriza kwe tekuliiko kye kukoze.
31Kyennaava mpowogganira Mowaabu; weewaawo, naaleekaanira Mowaabu yenna: abasajja ab'e Kirukeresi be balinnakuwalira.
32Naakukaabira ggwe amaziga, ai omuzabbibu ogw'e Sibuma, nga nkira okukaaba kwa Yazeri: amatabi go gaayita ku nnyanja, gaatuuka ne ku nnyanja ya Yazeri: omunyazi agudde ku bibala byo eby'omu kyeya ne ku bikungulwa byo.
33N'essanyu n'okujaguza biggiddwa ku nnimiro eŋŋimu ne ku nsi ya Mowaabu; era mmazeemu omwenge mu masogolero: tewaliba alisamba ng'aleekaana; okuleekaana kuliba nga si kuleekaana.
34Okuva ku kuleekaana kwa Kesuboni okutuuka ku Ereyale, n'okutuuka ku Yakazi, baleese eddoboozi lyabwe, okuva ku Zowaali okutuuka ku Kolonayimu, okutuuka ku Egulasuserisiya: kubanga amazzi ag'e Nimulimu nago galirekebwawo.
35Era nate ndikomya mu Mowaabu, bw'ayogera Mukama, oyo aweerayo ku kifo ekigulumivu n'oyo ayotereza bakatonda be obubaane.
36Omutima gwange kyeguva guvugira Mowaabu ng'emirere abasajja ab'e Kirukeresi: ebintu ebingi bye yafuna kyebivudde bizikirira.
37Kubanga buli mutwe guliko ekiwalaata, na buli kirevu kisaliddwa: ku mikono gyonna kuliko ebisale, ne mu biwato mulimu ebibukutu.
38Ku nnyumba zonna eza Mowaabu waggulu ne mu nguudo zaayo wonna wonna waliwo okukungubaga: kubanga mmenye Mowaabu ng'ekibya ekitasanyusa, bw'ayogera Mukama.
39Nga kisuuliddwa! nga bawowoggana! Mowaabu ng'akyusizza enkoona n'ensonyi! kale Mowaabu alifuuka wa kusekererwa era wa kukeŋŋenterera eri abo bonna abamwetoolodde.
40Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, alibuuka ng'empungu, era alyanjuluza ebiwaawaatiro bye eri Mowaabu.
41Keriyoosi kimenyeddwa, n'ebigo babisonookerezza, n'omutima gw'abasajja ab'amaanyi aba Mowaabu ku lunaku luli guliba ng'omutima gw'omukazi bw'alumwa okuzaala.
42Era Mowaabu alizikirizibwa obutaba ggwanga, kubanga yeegulumizizza eri Mukama.
43Entiisa n'obunnya n'ekyambika biri ku ggwe, ai ggwe atuula mu Mowaabu, bw'ayogera Mukama.
44Adduka entiisa aligwa mu bunnya; n'oyo ava mu bunnya alikwatibwa mu kyambika: kubanga ndireeta ku ye, ku Mowaabu, omwaka ogw'okujjirwa kwabwe, bw'ayogera Mukama.
45Abadduka bayimirira nga tebalina maanyi wansi w'ekisiikirize kya Kesubooni: kubanga omuliro guvudde mu Kesubooni, n'ennimi z'omuliro zivudde wakati mu Sikoni, era gwokezza ensonda ya Mowaabu, n'obwezinge bw'abo abayoogaana.
46Zikusanze ggwe, Mowaabu abantu ba Kemosi babuze: kubanga batabani bo batwalibbwa nga basibe ne bawala bo batwalibbwa mu busibe.
47Naye ndikomyawo obusibe bwa Mowaabu mu nnaku ez'oluvannyuma, bw'ayogera Mukama. Omusango gwa Mowaabu we gukoma wano.