Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
13 verses
1Awo nate olunaku lwali lumu abaana ba Katonda ne bajja okukiika mu maaso ga Mukama, ne Setaani naye n'ajjira mu bo okukiika mu maaso ga Mukama.
2Mukama n'agamba Setaani nti Ova wa? Setaani n'addamu Mukama n'ayogera nti Nva kuddiŋŋana mu nsi n'okutambulatambula omwo wano ne wali.
3Mukama n'agamba Setaani nti Olowoozezza ku muddu wange Yobu? kubanga tewali mu nsi amufaanana, omusajja eyatuukirira era ow'amazima, atya Katonda ne yeewala obubi: era akyanywezezza obutayonoona bwe, newakubadde nga wasaakiriza gy'ali, okumuzikiririza obwereere.
4Setaani n'addamu Mukama n'ayogera nti Eddiba olw'eddiba, weewaawo, byonna omuntu by'alina alibiwaayo olw'obulamu bwe.
5Naye kaakano golola omukono gwo, okome ku magumba ge ne ku mubiri gwe, era alikwegaanira mu maaso go.
6Mukama n'agamba Setaani nti Laba, ali mu mukono gwo; kyokka mulekere obulamu bwe.
7Awo Setaani n'ava awali Mukama, n'alwaza Yobu amayute amazibu okuva ku bigere bye munda okutuuka ku bwezinge bwe.
8N'addiranga olugyo okweyaguza; n'atuulanga mu vvu.
9Awo mukazi we n'amugamba nti Okyanyweza obutayonoona bwo? weegaane Katonda ofe.
10Naye n'amugamba nti Oyogera ng'omu ku bakazi abasirusiru bwe boogera. Owa! Tunaaweebwanga ebirungi mu mukono gwa Katonda ne tutaweebwa bibi? mu ebyo byonna Yobu teyayonoona na mimwa gye.
11Awo mikwano gya Yobu abasatu bwe baawulira obubi buno bwonna obumujjidde, ne bajja buli muntu ng'ava mu kifo kye ye; Erifaazi Omutemani, ne Birudaadi Omusuki, ne Zofali Omunaamasi: ne balagaana wamu okujja okumukaabirako n'okumukubagiza.
12Awo bwe baayimusa amaaso gaabwe, nga bakyali wala ne batamumanya ne bayimusa eddoboozi lyabwe ne bakaaba; ne bayuza buli muntu omunagiro gwe, ne bafuumuulira enfuufu ku mitwe gyabwe eri ggulu.
13Awo ne batuula wamu naye ku ttaka ne bamala ennaku musanvu emisana n'ekiro, ne wataba amugamba kigambo: kubanga baalaba ennaku ze nga nnyingi nnyo.