Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
26 verses
1Awo Yobu n'alyoka ayasama akamwa n'akolimira olunaku lwe:
2Yobu n'addamu n'ayogera nti
3Olunaku luzikirire kwe nnazaalirwa, N'ekiro ekyayogera nti Omwana ow'obulenzi ali mu lubuto.
4Olunaku olwo lube ekizikiza; Katonda aleme okulutunuulira ng'ayima waggulu, So n'omusana guleme okulwakira.
5Ekizikiza n'ekisiikirize eky'okufa biruyite olw'abyo; Ekire kirutuuleko: Byonna ebiddugaza obudde birutiise.
6Ekiro ekyo ekizikiza ekikutte kikinyage: So luleme okusanyukira mu nnaku ez'omu mwaka; Luleme okutuuka mu muwendo gw'emyezi.
7Laba, ekiro ekyo kibe kigumba; Luleme okujjirwa eddoboozi ery'essanyu.
8Abo balukolimire abakolimira obudde, Abeeteeseteese okusaggula goonya.
9Emmunyeenye ez'ekiro kyalwo zibeeko ekizikiza: Lunoonye omusana, naye lugubulwe; So terutunuulira bikowe bya nkya:
10Kubanga terwaggala nzigi za lubuto lwa mmange. So terwakisa maaso gange obuyinike.
11Kiki ekyandobera okufa okuva mu lubuto? Kiki ekyandobera okuta obulamu bwe nnava mu byenda?
12Amaviivi ganzikiririza ki? Oba amabeere, okugayonka?
13Kubanga kaakano nandigalamidde ne nsirika; Nandyebase; bwe ntyo bwe nnandiwummudde:
14Wamu ne bassekabaka n'abakungu b'ensi, Abeezimbira mu matongo;
15Oba wamu n'abalangira abaalina ezaabu, Abajjuzanga ennyumba zaabwe effeeza:
16Oba ng'omwana omusowole akwekebwa sandibaddewo; Ng'abaana abawere abatalabanga ku musana n'akatono.
17Eyo ababi bakoma okuteganya; Era eyo abakoowu gye bawummulira.
18Eyo abasibe gye bessiza awamu; Tebawulira ddoboozi lya mukoza.
19Omuto n'omukulu bali eyo; N'omuddu aba wa ddembe eri mukama we.
20Alaba obuyinike aweerwa ki omusana? N'obulamu abuweerwa ki oyo alumiddwa omwoyo;
21Abeegomba okufa, naye ne kutajja; Ne bakusima okusinga obugagga obukwekeddwa;
22Abasanyuka ennyo nnyini, Ne bajaguza, bwe bayinza okulaba entaana?
23Omuntu akwekeddwa ekkubo lye aweerwa ki omusana, Era Katonda gw'akomedde olukomera?
24Kubanga okusinda kwange kujja nga sinnalya, N'okuwuluguma kwange kufukibwa ng'amazzi.
25Kubanga kye ntidde kinjijako, N'ekyo kye nkankanira kijja gye ndi.
26Sessa so sitereera so siwummula; Naye ennaku zijja.