Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
21 verses
1Awo Erifaazi Omutemani n'addamu n'ayogera nti
2Omuntu bw'anaagezaako okwogera naawe, onoonyiiga? Naye ani ayinza okuzibiikiriza obutayogera?
3Laba, wayigirizanga bangi, Era wanywezanga emikono eminafu.
4Ebigambo byo byamuwaniriranga oyo eyali agudde, Era wawanga amaanyi amaviivi agaddirira.
5Naye kaakano kituuse gy'oli n'ozirika; Kikukomako ne weeraliikirira.
6Okutya kwo Katonda si bwe bwesige bwo, N'amakubo go amagolokofu si kwe kusuubira kwo?
7Nkwegayiridde, jjukira, ani eyali abuze nga taliiko musango? Oba abatuukirivu baali bamaliddwawo wa?
8Nga bwe nnalaba, abo abakabala obujeemu, Ne basiga obuyinike, era bye bakungula.
9Bazikirira olw'omukka gwa Katonda, Era bamalibwawo olw'okuwuuma kw'obusungu bwe.
10Okuwuluguma kw'empologoma n'eddoboozi ly'empologoma enkambwe, N'amannyo g'empologoma ento gamenyeka.
11Empologoma enkulu efa omuyiggo nga gugibuze, N'abaana b'empologoma ne basaasaana.
12Kale ekigambo kyandeeterwa kyama, N'okutu kwange ne kutoola okuwuuma kwakyo.
13Mu kulowooza okuva mu kwolesebwa okw'ekiro, Otulo otungi bwe tukwata abantu.
14Entiisa n'enkwata n'okukankana, Amagumba gange gonna n'okunyegenya ne ganyegenya.
15Awo omwoyo ne guyita ku maaso gange; Enviiri ez'omubiri gwange ne zinva ku mutwe.
16Gwayimirira buyimirizi, naye ne siyinza kwetegereza bwe gufaanana; Ekifaananyi kyali mu maaso gange: Waaliwo okusirika, ne mpulira eddoboozi eryogera nti
17Omuntu afa alisinga Katonda obutuukirivu? Omuntu aliba mulongoofu okukira eyamukola?
18Laba, teyeesiga baddu be; Ne bamalayika be abalanga obusirusiru:
19T'alisinga nnyo kubanga abo abasula mu nnyumba ez'ettala, Omusingi gwabwe guli mu nfuufu, Ababetentebwa okusooka ekiwojjolo!
20Bazikiririra mu kiseera ekiri wakati w'enkya n'akawungeezi: Babula emirembe gyonna nga tewali akissaako mwoyo.
21Omugwa gwabwe ogw'eweema tegusimbulwa munda yaabwe? Bafa, era awatali magezi.