Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
24 verses
1Era nate Mukama n'addamu Yobu n'ayogera nti
2Aleeta ensonga ezitaliimu anaayombesa Omuyinza w'ebintu byonna? Awakanya Katonda akiwoze.
3Awo Yobu n'alyoka addamu Mukama n'ayogera nti
4Laba, siriimu ka buntu; n'akuddamu ntya? Nteeka omukono gwange ku kamwa kange.
5Njogedde omulundi gumu, so ssiddemu; Weewaawo, emirundi ebiri, naye sseeyongere nate.
6Awo Mukama n'addamu Yobu ng'ayima mu mbuyaga ez'akazimu n'ayogera nti
7Weesibe nno ekimyu ng'omusajja: Naakubuuza, naawe onziremu.
8N'okujjulula onojjulula omusango gwe nsala? Ggwe ononsalira nze omusango obeere n'obutuukirivu?
9Oba olina omukono nga Katonda? Era oyinza okubwatuka n'eddoboozi erifaanana erirye?
10Weeyonje nno n'okuwooma n'okutiibwa; Yambala ekitiibwa n'obukulu.
11Fuka obusungu bwo okusukkiridde: Otunuulire buli muntu ow'amalala omujeeze.
12Tunuulira buli muntu ow'amalala omukkakkanye; Olinnyirire ababi we bayimirira.
13Bakise wamu mu nfuufu; Siba amaaso gaabwe mu kifo ekikisibwa.
14Kale nange ne ndyoka nzikiriza ku ggwe Ng'omukono gwo gwe guyinza okukulokola.
15Laba nno envubu gye nnatondera awamu naawe; Erya omuddo ng'ente.
16Laba nno amaanyi gaayo gali mu kiwato kyayo, N'amawaggali gaayo gali mu binywa eby'omu lubuto lwayo.
17Yeesagga omukira ng'omuvule: Ebinywa eby'omu kiwato kyayo byegatta wamu.
18Amagumba gaayo galiŋŋanga enseke ez'ebikomo; Amagulu gaayo galiŋŋanga ebyuma ebisiba.
19Ye ekulira amakubo ga Katonda: Ye yekka eyagitonda ayinza okugisembereza ekitala kye.
20Mazima ensozi zigizaalira ebyokulya; Ensolo zonna ez'omu nsiko we zizannyira.
21Egalamira wansi w'ebisiikirize by'emiti, Mu bwekwekero obw'omu ndago ne mu bitosi.
22Ebisiikirize by'emiti bigibikkako; Emyerebu egy'omu bugga gigyetooloola.
23Laba, omugga bwe gwanjaala, tekankana: Eguma omwoyo Yoludaani newakubadde nga gujjula ne gutuuka ku kamwa kaayo.
24Waliwo anaagikwata bw'eba ng'etunula, Oba anaawummula ennyindo zaayo n'ekyambika?