Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
30 verses
1Omanyi ebiro embulabuzi ez'oku njazi mwe zizaalira? Oba oyinza okutegeera empeewo bwe ziba n'amawako?
2Oyinza okubala emyezi gye zimala? Oba omanyi ebiro mwe zizaalira?
3Zikutama, zizaala abaana baazo, Zeggyamu obubalagaze bwazo.
4Abaana baazo bagejja, bakulira ebweru ku ttale; Bafuluma ne batadda.
5Ani eyata entulege okuba ey'eddembe? Oba ani eyasumulula enkoba ez'entulege?
6Nafuula ensiko okuba ennyumba yaayo, N'ensi ey'omunnyo okuba ekifo w'ebeera.
7Enyooma oluyoogaano olw’omu kibuga, So tewulira kulekaana kwa mugobi.
8Ensozi bwe zenkana obugazi lye ddundiro lyayo, Era enoonya buli kintu ekibisi.
9Embogo enekkirizanga okukuweereza? Oba eneebeeranga awali ekisibo kyo?
10Oyinza okusiba embogo n'olukoba lwayo ku kibibi? Oba eneerimanga ebiwonvu ng'ekuvaako ennyuma?
11Onoogyesiganga kubanga amaanyi gaayo mangi? Oba onoogirekeranga omulimu gwo?
12Onoogyesiganga okukomyawo ewuwo ensigo zo, N'okukuŋŋaanyanga eŋŋaano ey'omu gguuliro lyo?
13Ekiwaawaatiro kya maaya kisanyuka; Naye ebiwaawaatiro bye n'ebyoya birina ekisa?
14Kubanga aleka amagi ge ku ttaka, N'egabugumya mu musenyu,
15Ne yeerabira ng'ekigere kiyinza okugabetenta, Oba ensolo ey'omu nsiko eyinza okugalinnyirira.
16Akakanyalira abaana be ng'abatali babe: Newakubadde ng'ateganira bwereere talina kutya;
17Kubanga Katonda yamuggyako amagezi, So tamuwadde kutegeera.
18Bw'aba nga yeegulumizizza, Anyooma embalaasi n'oyo agyebagala.
19Wawa embalaasi amaanyi gaayo? Wayambaza obulago bwayo n'olugiŋŋirima olukankana?
20Wagibuusa ng'enzige? Ekitiibwa ky'okufugula kwayo kya ntiisa.
21Etakulira mu kiwonvu, n'esanyukira amaanyi gaayo: Efuluma okusisinkana n'abasajja abakutte ebyokulwanyisa.
22Esekerera okutya so tekeŋŋentererwa; so tedda nnyuma awali ekitala.
23Omufuko guwulungutira ku yo, Effumu erimasamasa n'akasaale.
24Emira ettaka n'obusungu n'ekiruyi; So tekkiriza nga lye ddoboozi ery'ekkondeere.
25Ekkondeere buli lwe livuga, n'eyogera nti Bw'otyo N'ekonga olutalo nga lukyali wala, Okubwatuka kw'abaami n'okuleekaana.
26Magga atumbiira na magezi go, N'abamba abiwaawaatiro bye eri obukiika obwa ddyo?
27Empungu erinnya na kiragiro kyo, N'ekola ekisu kyayo waggulu?
28Ebeera ku jjinja, n'ennyumba yaayo eri okwo, Ku linnyo ly'ejjinja n'ekifo eky'amaanyi.
29Erengera omuyiggo ng'eyima okwo; Amaaso gaayo gagulaba nga guli wala.
30Era n'abaana baayo banuuna omusaayi: Era awaba emirambo, gy'ebeera eyo.