Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
41 verses
1Awo Mukama n'alyoka addamu Yobu ng'ayima mu mbuyaga ez'akazimu n'ayogera nti
2Ani ono aleeta akizikiza mu kuteesa N'ebigambo ebitaliimu kumanya?
3Kale nno weesibe ekimyu ng'omusajja; Kubanga naakubuuza, naawe onziremu.
4Wali oli ludda wa bwe nnassaawo emisingi gy'ensi? Yatula oba olina okutegeera.
5Ani eyateesa ebigera byayo, oba nga omanyi? Oba ani eyagireegera omugwa?
6Emisingi gyayo gyasibirwa ku ki? Oba ani eyassaawo ejjinja lyayo ekkulu ery'oku nsonda;
7Emmunyeenye ez'enkya bwe zaayimbira awamu, N'abaana ba Katonda bonna ne boogerera waggulu olw'essanyu?
8Oba ani eyasiba ennyanja n'enzigi, Bwe yawaguza ng'ekiva mu lubuto;
9Bwe nnafuula ekire okuba ekyambalo kyayo, N'ekizikiza ekikutte okuba ebiwero eby'okubikka,
10Bwe nnagiragira etteeka lyange, Ne nzisaawo ebisiba n'enzigi,
11Ne njogera nti Wano w'okomanga so tosukkangawo; Era wano amayengo go ag'amalala we gaziyirizibwanga?
12Wali olagidde enkya ennaku zo kasookedde zibaawo, Wali omanyisizza emmambya ekifo kyayo;
13Ekwate enkomerero z'ensi, Era ababi bakunkumulwe okugivaamu?
14Ewaanyisibwa ng'ebbumba wansi w'akabonero; N'ebintu byonna bikukunuka ng'ekyambalo:
15N'ababi omusana gwabwe gubaggibwako, N'omukono ogugulumizibwa gumenyeka.
16Wali oyingidde mu nsulo ez'ennyanja? Oba wali otambudde mu madubi ag'obuziba?
17Enzigi ez'okufa zaali zikubikkuliddwa? Oba wali olabye enzigi ez'ekisiikirize eky'okufa?
18Wali otegedde ensi bw'eri engazi? Yatula, oba nga obimanyi byonna.
19Ekkubo liri ludda wa eridda mu nnyumba ey'omusana, N'ekizikiza ekifo kyakyo kiri ludda wa;
20Ggwe okukiwerekera ku mbibi yaakyo? Era otegeere okutuuka ku nnyumba yaakyo?
21Omanyi, kubanga wali ozaaliddwa mu biro ebyo; N'omuwendo gw'ennaku zo mungi!
22Wali oyingidde mu mawanika g'amazzi amakwafu, Oba wali olabye amawanika ag'omuzira,
23Ge nnaterekera ebiro eby'okulabiramu ennaku, Olunaku olw'olutalo n'obulwa?
24Mu kkubo ki omusana mwe gwawukanira, Oba embuyaga ez'ebuvanjuba mwe zisaasaanira ku nsi?
25Ani eyasalira amataba olusalosalo, Oba ekkubo ery'enjota ez'okubwatuka;
26Okutonnyesa enkuba ku nsi okutali muntu; Mu ddungu omutali muntu n'omu;
27Okukkusa ettaka eryazika eryalekebwa; N'okulosa omuddo omuto?
28Enkuba erina kitaawe waayo? Oba ani eyazaala amatondo ag'omusulo?
29Mu lubuto lw'ani omwava amazzi amakwafu? N'omusulo omukwafu omweru ogw'omu ggulu ani eyaguzaala?
30Amazzi gakwekebwa nga gakwekeddwa n'amayinja. Ne kungulu ku buziba nga kukutte.
31Oyinza okusiba ekikuukuulu kya Kakaaga, Oba okusumulula olukoba lw'Entungalugoye?
32Oyinza okufulumya emmunyeenye mu ntuuko zaazo? Oba oyinza okuluŋŋamya Nabaliyo n'abaana be?
33Omanyi ebiragiro eby'omu ggulu? Oyinza okunyweza okufuga kwalyo mu nsi?
34Oyinza okuyimusa eddoboozi lyo eri ebire, Amazzi amangi ennyo gakubikkeko?
35Oyinza okuweereza enjota zitambule, Ne zikugamba nti Ffe tuutuno?
36Ani eyateeka amagezi mu bitundu eby'omunda? Oba ani eyawa emmeeme okutegeera?
37Ani ayinza okubala ebire olw'amagezi? Oba ani ayinza okuttulula amaliba ag'omu ggulu,
38Enfuufu bw'ekulukuta n'eba effunfugu, Amafunfugu ne geegattira ddala?
39Onooyiggira empologoma enkazi omuyiggo? Oba onokkusa okwegomba kw'abaana b'empologoma,
40Bwe zisula mu mpuku zaazo, Ne zibeera mu bisaka okuteega?
41Ani alabira namuŋŋoona emmere ye, Abaana be bwe bakaabira Katonda, Ne batambulatambula olw'okubulwa ebyokulya?