Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
24 verses
1Era n'ekyo kikankanya omutima gwange, Ne gunyeenyezebwa okuva mu kifo kyagwo.
2Muwulire okuwuuma kw'eddoboozi lye, N'okududuma okuva mu kamwa ke.
3Akusindika wansi w'eggulu lyonna, N'okumyansa kwe kubuna enkomerero z'ensi.
4Oluvannyuma lwakwo eddoboozi ne liwuluguma; Abwatuka n'eddoboozi ery'obukulu bwe: So tabiziyiza eddoboozi lye bwe liwulirwa.
5Katonda abwatuka kitalo n'eddoboozi lye; Akola ebikulu bye tutayinza kutegeera.
6Kubanga agamba omuzira nti Gwa ku nsi; Era bw'atyo bw'agamba oluwandaggirize, N'empandaggirize ez'enkuba ye ey'amaanyi.
7Assa akabonero ku mukono gwa buli muntu; Abantu bonna be yatonda balyoke bakimanye.
8Awo ensolo ne zigenda mu bwekwekero, Ne zibeera mu mpuku zaazo,
9Mu kisenge eky'obukiika obwa ddyo mwe muva omuyaga: Empewo ne ziva mu bukiika obwa kkono.
10Omukka gwa Katonda gwe guleeta omuzira: N'amazzi bwe genkana obugazi ne gakwata.
11Weewaawo, ajjuza ekire ekiziyivu amazzi; Abamba ekire eky'enjota ze:
12Era okuluŋŋamya kwe kwe kukikyusakyusa eruuyi n'eruuyi, Bikolenga byonna by'abiragira Kungulu ku nsi yonna okubeereka:
13Oba nga kya kubuulirira, oba nga kya nsi ye, Oba nga kya kusaasira, kyava akireeta.
14Ekyo kiwulire, ggwe Yobu: Yimirira buyimirizi, olowooze ebikolwa bya Katonda eby'ekitalo.
15Omanyi Katonda bw'abikuutira, N'ayasa enjota ez'omu kire kye?
16Omanyi okutereezebwa kw'ebire, Ebikolwa eby'ekitalo eby'oyo eyatuukirira mu kumanya?
17Ebyambalo byo bwe bibuguma, Ensi ng'esirise olw'embuyaga ez'obukiika obwa ddyo?
18Oyinza okubambira eggulu awamu naye, Amaanyi gaalyo genkana endabirwamu ensaanuuse?
19Tuyigirize bye tuba tumugamba; Kubanga tetuyinza kuliraanya kwogera kwaffe olw'ekizikiza.
20Anaabuulirwa nga njagala okwogera? Oba omuntu yandyagadde okumirwa?
21Era kaakano abantu tebalaba musana ogumasamasa mu ggulu: Naye embuyaga ne ziyita ne ziryerula.
22Mu bukiika obwa kkono mwe muva okuyakaayakana okuli nga zaabu: Katonda ayambadde ekitiibwa ekikanga.
23Omuyinza w'ebintu byonna tetuyinza kumunoonya; asinga bonna obuyinza: Era mu musango ne mu butuukirivu obusukkirivu talibonyabonya.
24Abantu kyebava bamutya: tabassaako omwoyo abo bonna abalina emitima egy'amagezi.