Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
33 verses
1Era nate Eriku ne yeeyongera n'ayogera nti
2Sooka ondeke, nange naakunnyonnyola; Kubanga nkyaliko kye njagala okwogera ku lwa Katonda.
3Naggya wala okumanya kwange, Era naamussaako obutuukirivu Omutonzi wange.
4Kubanga mazima ebigambo byange si bya bulimba: Omuntu eyatuukirira mu kumanya ali naawe.
5Laba, Katonda wa maanyi, so tanyooma muntu yenna: Wa maanyi mu buyinza obw'okutegeera.
6Takuuma bulamu bw'ababi: Naye abawa ababonyaabonyezebwa ebyabwe.
7Taggya maaso ge ku batuukirivu Naye awali bakabaka ku ntebe Gy'abateeka emirembe gyonna ne bagulumizibwa.
8Era bwe baba nga basibiddwa n'amasamba, Era nga bakwasibwa n'emigwa egy'okubonyabonyezebwa;
9Kale n'abalaga omulimu gwabwe, N'okusobya kwabwe nga bagize eby'amalala.
10Era aggulawo okutu kwabwe okuwulira okuyigirizibwa, N'abalagira bakomewo okuva mu butali butuukirivu.
11Bwe bawulira ne bamuweereza, Banaamalanga ennaku zaabwe nga balabye omukisa, N'emyaka gyabwe nga basanyuka.
12Naye bwe batawulira banaazikiriranga n'ekitala, Era banaafanga awatali kumanya.
13Naye abo abatamanyi Katonda mu mutima batereka obusungu: Tebakuba nduulu bayambwe bw'abasiba.
14Bafa nga bakyali bato, N'obulamu bwabwe buzikirira mu abo abatali balongoofu.
15Awonya oyo abonyabonyezebwa olw'okubonyabonyezebwa kwe, Era aggula okutu kwabwe bwe bajoogebwa.
16Weewaawo, yandikuggye mu kulaba ennaku N'akuyingiza mu kifo ekigazi awatali kunyigirizibwa; N'ekyo ekiteekebwa ku mmeeza yo kyandijjudde obugimu.
17Naye ggwe ojjudde omusango gw'omubi: Omusango n'okusala eby'ensonga bikukwata.
18Kubanga waliwo obusungu, weekuume oleme okutwalibwa n'obugagga So enguzi tekukyamyanga kubanga nnene.
19Obugagga bwo bunaamala oleme okulaba ennaku, Oba obuyinza bwonna obw'amaanyi go?
20Teweegomba kiro, Amawanga bwe gazikirizibwa mu kifo kyago.
21Weekuume oleme okutunuulira obutali butuukirivu: Kubanga weerobozezza obwo okusinga okubonyabonyezebwa.
22Laba, Katonda akola ebigulumivu mu buyinza bwe: Ani omuyigiriza afaanana ye?
23Ani eyali amulagidde ekkubo lye? Oba ani ayinza okwogera nti Okoze ebitali bya butuukirivu?
24Jjukira okugulumizanga omulimu gwe, Abantu gwe baayimbangako.
25Abantu bonna baagutunuulira; Abantu baagulengera nga bayima wala.
26Laba, Katonda mukulu, naffe tetumumanyi; Omuwendo gw'emyaka gye tegunoonyezeka.
27Kubanga awalula waggulu amatondo g'amazzi, Agatonnya enkuba eva mu mukka gwe:
28Eggulu ge liyiwa Ne ligatonnya ku bantu mangi nnyo.
29Weewaawo, waliwo ayinza okutegeera ebire bwe bibambibwa, Okubwatuuka okw'omu weema ye?
30Laba, yeeyaliirira omusana gwe okwetooloola; Era asaanikira ku nnyanja wansi.
31Kubanga olw'ebyo asala emisango gy'amawanga; Agaba emmere nnyingi nnyo.
32Abikka engalo ze n'enjota; Era aziragira zikube sabbaawa.
33Eddoboozi lyazo linnyonnyola ebigambo bye, Era libuulira n'ente kibuyaga ayambuka.