Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
16 verses
1Era nate Eriku n'addamu n'ayogera nti
2Olowooza ekigambo ekyo ye nsonga yo, Oba oyogera nti Obutuukirivu bwange businga obwa Katonda?
3N'okwogera n'oyogera nti Kirikugasa ki? Era nti Ndifuna magoba ki ge ndiba nago okukira ge nnandifunye singa nayonoona?
4Nze nnaakuddamu, Ne banno wamu naawe.
5Tunuulira eggulu olabe; Era ttunuulira eggulu erikusinga obugulumivu.
6Oba nga oyonoonye omukola ki? Okusobya kwo bwe kweyongerayongera, omukola ki?
7Bw'oba n'obutuukirivu, omuwa ki? Oba aweebwa ki mu mukono gwo?
8Obubi bwo buyinza okulumya omuntu nga ggwe bw'oli; N'obutuukirivu bwo buyinza okugasa omwana w'omuntu.
9Olw'okujoogebwa okungi ennyo bakaaba; Bakuba enduulu bayambibwe olw'omukono ogw'ab'amaanyi.
10Naye tewali ayogera nti Katonda Omutonzi wange ali ludda wa, Awa ennyimba ekiro;
11Atuyigiriza okusinga ensolo ez'oku nsi, Era atuwa amagezi okukira ennyonyi ez'omu bbanga?
12Bakaabira eyo, naye tewali addamu, Olw'amalala ag'abantu ababi.
13Mazima Katonda taawulire bigambo ebitaliimu, So n'Omuyinza w'ebintu byonna tasseeyo mwoyo.
14Kale aliwulira atya bw'oyogera nti tomulaba, Ensonga eri mu maaso ge, naawe omulindirira?
15Naye kaakano kubanga tabonerezza na busungu bwe, So tassaayo nnyo omwoyo eri esukuti;
16Yobu kyava ayasama akamwa ke okwogera ebigambo ebitaliimu; Ayongerayongera ebigambo awatali kumanya.