Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
37 verses
1Era nate Eriku n'addamu n'ayogera nti
2Muwulire ebigambo byange, mmwe abasajja ab'amagezi; Era mutege okutu gye ndi, mmwe abalina okutegeera.
3Kubanga okutu kukema ebigambo, Ng'amatama bwe galega ku mmere.
4Twerondere ekyo ekinaaba eky'ensonga: Tumanye fekka na fekka ebirungi bwe biri.
5Kubanga Yobu ayogedde nti Nze ndi mutuukirivu, Era nti Katonda anziyeeko ensonga yange:
6Newakubadde nga nnina ensonga mpitibwa mulimba; Ekiwundu kyange tekiwonyezeka, newakubadde nga ssiriiko kusobya.
7Muntu ki afaanana Yobu, Anywa okunyoomebwa ng'amazzi?
8Atambulira awamu n'abakola ebitali bya butuukirivu, Era atambulira awamu n'abasajja ababi.
9Kubanga ayogedde nti Omuntu tekiriiko kye kimugasa Okusanyukira Katonda.
10Kale mumpulire, mmwe abasajja abalina okutegeera: Kiddire eri awali Katonda, ye okukola obubi; N'awali Omuyinza w'ebintu byonna, ye okukola ebitali bya butuukirivu.
11Kubanga alisasula omuntu omulimu gwe, Era alirabya buli muntu ng'amakubo ge bwe gali.
12Weewaawo, mazima Katonda taakolenga bubi, So n'Omuyinza w'ebintu byonna taalyenga nsonga.
13Ani eyamuteresa ensi okugikuuma? Oba ani eyateekateeka ebintu byonna bwe byenkana?
14Bw'ateeka omutima gwe ku bantu, Bw'akuŋŋaanyiza gy'ali omwoyo gwe n'omukka gwe;
15Byonna ebirina omubiri birizikiririra wamu, Abantu ne badda mu nfuufu.
16Kale oba olina okutegeera, wulira kino: Wulira eddoboozi ly'ebigambo byange.
17Akyawa eby'ensonga oyo alifuga? Era onoosalira oyo omutuukirivu era ow'amaanyi okumusinga?
18Kirungi okugamba kabaka nti Ggwe oli mugwagwa? Oba abakungu nti Mmwe muli babi?
19Okusinga ennyo si kirungi okugamba oyo atatya maaso ga balangira, So talowooza mugagga okusinga omwavu? Kubanga bonna mulimu gwa mikono gye.
20Bafa mu kaseera akatono, mu ttuntu; Abantu bakankanyizibwa ne bayitawo, N'ab'amaanyi baggibwawo awatali mukono.
21Kubanga amaaso ge gatunuulira amakubo ag'omuntu, Era alaba okutambula kwe kwonna.
22Tewali kizikiza newakubadde ekisiikirize eky'okufa, Abakola ebitali bya butuukirivu we bayinza okwekweka.
23Kubanga teyeetaaga kweyongera kulowooza omuntu, Atuuke mu maaso ga Katonda okusalirwa omusango.
24Amenyamenya abasajja ab'amaanyi mu ngeri etenoonyezeka, Era assaawo abalala mu kifo kyabwe.
25Kyava alabirira emirimu gyabwe; Era abavuunika kiro n'okuzikirizibwa ne bazikirizibwa.
26Abakuba ng'ababi Mu maaso g'abalala aweeru;
27Kubanga bakyama obutamugoberera, So tebayagala kussaayo mwoyo eri amakubo ge gonna:
28N'okutuusa ne batuusa gy'ali okukaaba kw'omwavu, N'awulira okukaaba kw'abo ababonyaabonyezebwa.
29Ye bw'awa okutereera, kale ani ayinza okusala omusango okusinga? Era ye bw'akweka amaaso ge, kale ani ayinza okumutunuulira? Oba nga ggwanga oba nga muntu, kyonna bwe bumu:
30Omusajja atamanyi Katonda alemenga okufuga, Walemenga okubaawo anaateega abantu.
31Kubanga waliwo eyali agambye Katonda, nti Mbonerezebbwa, sikyasobya nate:
32Kye ssiraba kinjigirize: Oba nga nkoze obujeemu ssikyabukola nate?
33Empeera ye eriba nga ggwe bw'oyagala n'okugaana n'ogigaana? Kubanga ggwe oba weeroboza so si nze: Kale yogera ekyo ky'omanyi.
34Abantu abalina okutegeera baligamba nti Weewaawo, buli muntu ow'amagezi ampulira, anaŋŋamba nti
35Yobu ayogera nga talina kumanya, N'ebigambo bye tebiriimu magezi,
36Yobu singa akemeddwa okutuusa enkomerero, Kubanga ayanukula ng'abantu ababi.
37Kubanga ayongera obujeemu ku kwonoona kwe, Akuba mu ngalo ze ng'ayima wakati mu ffe, Era ayongerayongera ebigambo bye okuwakanya Katonda.