Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
33 verses
1Naye, Yobu, nkwegayiridde, wulira okwogera kwange, Era tega okutu kwo eri ebigambo byange byonna.
2Laba nno, njasamye akamwa kange, Olulimi lwange lwogedde mu kamwa kange.
3Ebigambo byange binaayatula obugolokofu bw'omutima gwange; N'emimwa gyange bye gimanyi bye ginaayogera awatali bukuusa.
4Omwoyo gwa Katonda gwe gwankola, N'omukka gw'Omuyinza w'ebintu byonna gwe gumpa obulamu.
5Oba, oyinza, nziraamu: Liraanya ebigambo byo mu maaso gange, oyimirire wakati.
6Laba, ndi awali Katonda era nga ggwe bw'oli: Era nange nabumbibwa okuva mu ttaka.
7Laba, entiisa yange teekukange, So n'okunyigiriza kwange tekuukuzitoowerere.
8Mazima oyogedde nze nga mpulira, Nange mpulidde eddoboozi ly'ebigambo byo ng'oyogera nti
9Ndi mulongoofu nga ssiriiko kusobya; Ssiriiko musango, so mu nze temuli butali butuukirivu:
10Laba, anziyako ensonga, Ampita mulabe we;
11Ateeka ebigere byange mu nvuba, Alabirira amakubo gange gonna.
12Laba, naakuddamu, mu ekyo tolina nsonga; Kubanga Katonda asinga omuntu obukulu.
13Kiki ekikuwakanya naye? Kubanga tabalirira muwendo gwa bigambo bye byonna.
14Kubanga Katonda ayogera omulundi gumu, Weewaawo, emirundi ebiri, abantu newakubadde nga tebassaayo mwoyo.
15Mu kirooto, mu kwolesebwa okw'omu kiro, Otulo otungi bwe tukwata abantu, Nga babongoota ku kitanda;
16Awo n'alyoka aggula amatu g'abantu, N'ateeka akabonero ku kuyigirizibwa kwabwe,
17Aggye abantu mu kuteesa kwabwe, Era akweke abantu amalala;
18Aziyiza emmeeme ye okukka mu bunnya, N'obulamu bwe buleme okufa n'ekitala.
19N'okulumwa kumukangavvula ku kitanda kye, N'okulwana okutamala mu magumba ge:
20Obulamu bwe n'okutamwa ne butamwa emmere, N'emmeeme ye ekyokulya ekiyonjo.
21Omubiri gwe gumalibwawo n'okuyinzika ne gutayinzika kulabibwa; N'amagumba ge agaali gatalabika ne gakukunala.
22Weewaawo, emmeeme ye esemberera obunnya, N'obulamu bwe busemberera abazikiriza.
23Oba waliwo wamu naye malayika, Omutegeeza, omu mu lukumi, Okwolesa abantu ebibagwanira;
24Awo n'amukwatirwa ekisa n'ayogera nti Muwonye aleme okukka mu bunnya, Ndabye ekinunulo.
25Omubiri gwe guliba muggya okusinga ogw'omwana omuto; Adda mu nnaku z'obuto bwe:
26Asaba Katonda, era amukwatirwa ekisa; N'okulaba alaba amaaso ge n'essanyu: Era awa nate omuntu obutuukirivu bwe.
27Ayimbira mu maaso g'abantu n'ayogera nti Nnyonoonye ne nnyoola ekyo ekyali ekirungi, So ssiriiko kye nnagasibwa:
28Anunudde emmeeme yange obutakka mu bunnya. N'obulamu bwange bunaatunuuliranga omusana.
29Laba, ebyo byonna Katonda abikola, Emirundi ebiri, weewaawo, n'esatu eri omuntu,
30Okukomyawo emmeeme ye mu bunnya, Ayakirwe omusana ogw'abalamu.
31Weetegereze nnyo, ai Yobu, ompulire: Sirika, nange naayogera.
32Oba nga olina eky'okwogera nziraamu: Yogera, kubanga njagala okukufuula omutuukirivu.
33Oba nga si weewaawo, mpulira: Sirika, nange naakuyigiriza amagezi.