Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
22 verses
1Awo abasajja abo abasatu ne baleka okuddamu Yobu, kubanga yali mutuukirivu mu maaso ge ye.
2Awo obusungu bwa Eriku, mutabani wa Balakeri Omubuzi, ow'omu kika kya Laamu ne bulyoka bubuubuuka eri Yobu, kubanga yeeyita mutuukirivu so si Katonda.
3Era obusungu bwe ne bubuubuuka n'eri mikwano gye bonsatule kubanga tebaalaba kya kuddamu, naye ne basalira Yobu okumusinga.
4Era Eriku yali alindiridde okwogera ne Yobu, kubanga waaliwo abaamusinga obukulu.
5Awo Eriku bwe yalaba nga mu kamwa k'abasajja abo abasatu temuli kya kuddamu, obusungu bwe ne bubuubuuka.
6Awo Eriku mutabani wa Balakeri Omubuzi n'addamu n'ayogera nti Nze ndi muto, nammwe muli bakadde nnyo; Kyennavudde nzibiikiriza ne ssaŋŋanga kubalaga kye ndowooza.
7Njogedde nti Ennaku ze zandyogedde, Olufulube lw'emyaka lwandiyigirizza amagezi.
8Naye waliwo omwoyo mu bantu, N'omukka gw'Omuyinza w'ebintu byonna gubawa okutegeera.
9Abakulu si be bagezi, So n'abakadde si be bategeera emisango.
10Kyenvudde njogera nti Mumpulire; Era nange naalaga kye ndowooza.
11Laba, nnindiridde ebigambo byammwe, Mpulirizza ensonga zammwe, Nga munoonya bye muba mwogera.
12Weewaawo, nteze okutu eri mmwe, Era, laba, nga tewali asinze Yobu, Newakubadde azzeemu ebigambo bye ku mmwe.
13Mwekuume muleme okwogera nti Tulabye amagezi; Mpozzi Katonda ayinza okumuwangula, si bantu:
14Kubanga ebigambo bye tabyolekezza nze; So ssiimuddemu na kwogera kwammwe.
15Basamaaliridde, tebakyayanukula: Tebalina kigambo kya kwogera.
16Nange naalindirira, kubanga teboogera, Kubanga bayimirira buyimirizi nga tebakyayanukula?
17Era nange naayanukula ebyange, Era nange naalaga kye ndowooza.
18Kubanga njijudde ebigambo; Omwoyo gwange oguli mu nze gumpaliriza.
19Laba, olubuto lwange luliŋŋanga omwenge ogutaliiko we gufulumira; Ng'amaliba amaggya lwagala okwabika.
20Naayogera ndyoke mpeereweere; Naayasama emimwa gyange ne nziramu.
21Nkwegayiridde, nneme okusosola mu bantu eri omuntu yenna; So ssiiwe muntu yenna mannya ganyumiikiriza.
22Kubanga simanyi kuwa mannya ganyumiikiriza; Omutonzi wange yandinziyeewo mangu.