Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
40 verses
1Nalagaana endagaano n’amaaso gange; Kale nandiyinzizza ntya okutunuulira omuwala?
2Kubanga omugabo gwa Katonda oguva waggulu kye kiki, N'obusika obw'Omuyinza w'ebintu byonna obuva engulu?
3Si buyinike eri atali mutuukirivu, N'okulaba ennaku eri abakola eby'obujeemu?
4Talaba makubo gange, N'abala ebigere byange byonna?
5Oba nga nali ntambudde n'obutaliimu, Oba nga ekigere kyange kyanguye okukuusakuusa;
6(Mpimibwe mu minzaani eyenkanankana, Katonda alyoke amanye obutayonoona bwange;)
7Oba nga ekigere kyange kyali kikyamye mu kkubo, N'omutima gwange oba nga gwali gugoberedde amaaso gange, Era oba nga ebbala lyonna lyali lyegasse n'engalo zange:
8Kale nze nsige, omulala alye; Weewaawo, emmere ey'omu nnimiro yange esimbulibwe.
9Omutima gwange oba nga gwali gusendeddwa eri omukazi, Ne nteegera ku mulyango gwa munnange:
10Kale mukazi wange aseere omulala, Era abalala bakutame ku ye.
11Kubanga ekyo kyandibadde kya kivve; Weewaawo, kyandibadde kibi ekigwana abalamuzi okukibonereza:
12Kubanga muliro ogwokya ne guzikiriza, Era ogwagala okusimbula emmere yange yonna.
13Oba nga nali nnyoomye ensonga ey'omuddu wange oba omuzaana wange, Bwe bampawaabira:
14Kale ndikola ntya, Katonda bw'aligolokoka? Era bw'alinjijira, ndimuddamu ntya?
15Eyankola nze mu lubuto si ye yamukola ye? Eyatubumba mu lubuto fembi si omu?
16Oba nga nali nnyimye abaavu kye beegomba, Oba nali mazizzaawo amaaso ga nnamwandu;
17Oba nali ndidde akamere kange nzekka; So atalina kitaawe taliddeeko.
18(Nedda, okuva mu buto bwange yakulira wamu nange nga kitaawe, Ne nnamwandu n'abanga mulezi we okuva mu lubuto lwa mmange;)
19Oba nga nali ndabye n'omu ng'afa olw'okubulwa ebyambalo, Oba eyeetaaga nga talina kye yeebikka:
20Ekiwato kye oba nga tekyanneebaza, Era oba nga tabugumye na byoya bya ndiga zange;
21Oba nga nali nnyimusizza omukono gwange eri atalina kitaawe, Kubanga nalaba anannyamba mu mulyango:
22Kale ekibegabega kyange kive ku nkwakwa, N'omukono gwange gukutuke okuva ku ggumba.
23Kubanga obuyinike obuva eri Katonda bwabanga ntiisa gye ndi, Era olw'obukulu bwe ne ssibaako kye nnyinza kukola.
24Oba nga nali nfudde zaabu okuba essuubi lyange, Era oba nga nali ŋŋambye zaabu ennungi nti Ggwe bwesige bwange;
25Oba nga nali nsanyuse kubanga obugagga bwange bwali bungi, Era kubanga omukono gwange gwali gufunye bingi;
26Oba nga nali ntunuulidde enjuba, Oba omwezi nga gutambulira mu kumasamasa;
27Omutima gwange ne gusendebwa kyama, Akamwa kange ne kanywegera omukono gwange:
28Era n'ekyo kyandibadde kibi ekigwana abalamuzi okukibonereza: Kubanga nandirimbye Katonda ali waggulu.
29Oba nga nali nsanyukidde oyo eyankyawa ng'azikiridde, Oba nali neeyimusizza obubi bwe bwamulaba;
30(Weewaawo, saaganya kamwa kange kwonoona Nga nsaba obulamu bwe nga nkolima;)
31Abasajja ab'omu weema yange oba nga tebaayogera nti Ani ayinza okulaba omuntu atakkuse nnyama ye?
32Omugenyi teyasulanga mu luguudo; Naye n'aggulirangawo enzigi zange omutambuze;
33Oba nga nali mbisse ku kusobya kwange nga Adamu, Nga nkisa obutali butuukirivu bwange mu kifuba kyange;
34Kubanga nali ntidde ekibiina ekinene, N'okunyoomebwa ebika ne kunkanga, N'okusirika ne nsirika ne ssiva mu mulyango.
35Singa wabaddewo anampulira! (Laba, kano ke kabonero kange Omuyinza w'ebintu byonna anziremu;) Era mba kuba n'ekyo omulabe wange ky'ampawaabidde ky'awandiise!
36Mazima nandikisitulidde ku kibegabega kyange; Nandikyesibye nga kiremba.
37Nandimubuulidde ebigere byange bwe byenkana omuwendo; Nandimusemberedde ng'omukungu.
38Ensi yange bw'enempawaabira, N'ebibibi byayo ne bikaabira wamu amaziga;
39Oba nga nali ndidde ebibala byamu awatali ffeeza, Oba nali nfiisizza bannyini yo:
40Omwennyango gudde mu kifo ky'eŋŋaano. Ne ssere mu kifo kya sayiri. Ebigambo bya Yobu biwedde.