Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
31 verses
1Naye kaakano be nsinga obukulu bansekerera, Bakitaabwe nabanyooma okubateeka wamu n'embwa ez'ekisibo kyange.
2Weewaawo, amaanyi ag'emikono gyabwe gandingasizza ki? Abantu abaweddemu obuvubuka,
3Bakoozimbye olw'okwetaaga n'enjala; Bameketa ettaka ekkalu mu kizikiza eky'okuzika n'okwonooneka.
4Banoga enkunga awali ebisaka; N'enkolo ez'omwoloola ye mmere yaabwe.
5Bagobebwa wakati mu bantu; Babalangira nga bwe balangira omubbi.
6Kibagwanira okubeera mu njatika ez'omu biwonvu, Mu bunnya obw'omu ttaka n'obw'omu njazi.
7Balirira mu bisaka, Wansi w'emyennyango we bakuŋŋaanira.
8Baana ba basirusiru, weewaawo, baana ba basajja abatalina linnya; Baakubibwa emiggo ne bagobebwa mu nsi.
9Kale kaakano nze nfuuse oluyimba lwabwe, Weewaawo, ndi kigambo kya buwemu gye bali.
10Bantamwa, banneesamba, Tebaleka kumpandira malusu mu maaso.
11Kubanga asumuludde omugwa gwe n'ambonyaabonya, Era basudde olukoba olugoba mu maaso gange.
12Ku mukono gwange ogwa ddyo kugolokokera abalalulalu; Basindiikiriza ebigere byange, Era batuuma ku nze amakubo gaabwe ag'okuzikirira.
13Boonoona ekkubo lyange, Bongera ku nnaku ze ndabye, Abantu ababulwa ow'okubayamba.
14Bajja nga bayita mu kituli ekiwagule ekigazi: Wakati mu matongo bangwako.
15Ebitiisa bikyuse okungwako, Bayigganya ekitiibwa kyange ng'empewo; N'omukisa gwange guweddewo ng'ekire.
16Era kaakano emmeeme yange efukiddwa munda yange; Ennaku ez'okubonyaabonyezebwamu zinkutte.
17Ekiro amagumba gange gafumitibwa mu nze, N'obubalagaze obunnuma tebuwummula.
18Olw'amaanyi amangi ag'endwadde yange ekyambalo kyange kyonoonese: Ensibira ddala ng'ekitogi ky'ekizibawo kyange.
19Ansudde mu bitosi, Era nfuuse ng'enfuufu n'evvu.
20Nkukaabira so tonziramu: Nayimirira, n'ontunuulira.
21Okyuse okuba omukambwe gye ndi: Olw'amaanyi ag'omukono gwo onjigganya.
22Onsitulira awali empewo n'ozinneebagazaako; Era onsaanuusizza mu kibuyaga,
23Kubanga mmanyi ng'olintuusa mu kufa, N'eri ennyumba eyateekerwawo abalamu bonna.
24Mazima taagololere mukono gwe ku kifunvu ky'ebyagwa; Newakubadde nga bibeera mu kuzikirira kwe, omuntu ayinza okulira olw'ebyo.
25Saamukaabira amaziga oyo eyali mu nnaku? Emmeeme yange teyanakuwalira oyo eyeetaaga?
26Bwe nnasuubira ebirungi, ebibi ne biryoka bijja; Era bwe nnalindirira omusana, ekizikiza ne kijja.
27Ebyenda byange byesera ne bitawummula: Ennaku ez'okubonyaabonyezebwamu zintuuseeko.
28Ntambula nga mpuubaala awatali njuba: Nnyimirira mu kkuŋŋaaniro ne nkuba enduulu bannyambe.
29Ndi muganda w'ebibe, Ne bamaaya ndi munnaabwe.
30Eddiba ery'omubiri gwange liddugadde, linsasambukako, N'amagumba gange gookeddwa n'ebbugumu.
31Ennanga yange kyevudde ekyuka okuwuubaala, N'omulere gwange gufuuse ddoboozi ly'abo abakaaba amaziga.